Bya Gladys Nanyombi
Kabuusu
Amyuka pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) era nga ye mubaka w’ekibuga kye Masaka mu Palamenti, Mathias Mpuuga, alabudde bannakibiina ku kulwanira ebifo n’agamba nti kino kijja kubalemesa okutuukiriza ekigenderererwa ekinene.
“Ebifo by’obukulembeeze bya kaseera buseera era mbasaba ffenna tutunulire ensonga ennene ey’okununula eggwanga, twesonyiwe obusonga obutaliimu makulu . Bwe muba musobodde okugumiikiriza Museveni emyaka 35, lwaki mulemererwa okutuula nemukkaanya ku nsonga ezibatawaanya.” Mpuuga bw’agambye.
Bino Mpuuga abyogeredde ku ttabi ly’ekibiina kya NUP e Kabuusu wamu ne mu Kampala bw’abadde asisinkanye abeegwanyiza kkaadi ya NUP ku bwmmeeya bw’e Mukono, Erias Nkoyooyo ne Daniel Lugoloobi.
Kino kiddiridde bannakibiina abawerako okutegeeza nga bwe bataafunye bwenkanya mu kugaba kkaadi z’ekibiina era ng’abamu balumiriza nti zino abakulu baazitunze.
E Mukono embiranye eri wakati wa Lugoloobi alumiriza Nkoyooyo okutwala obuwanguzi bwe.
Bano olutuuse ewa Ssentebe Mpuuga nebeesogga akafubo akagaaniddwamu bannamawulire akamalidde ddala essaawa bbiri nnamba era bwe bafulumye nebategeeza bannamawulire nti ebikkaanyiziddwako bajja kubirangirira mu maaso awo.
Ku ndooliito zino, Mpuuga yasabye bannakibiina beegatte basobole okutuukiriza ekigendererwa ekinene kubanga akalulu kagenda kusalawo kinene ku kye balina okuzzaako.
“Abakulembeeze bwe baagana okwegatta, mmwe abantu mwegatte kubanga abantu abali awamu basobola okugatta abakulembeze era nebatuuka ku nzikiriziganya etaliimu kuyiwa musaayi.” Mpuuga bw’agasseeko.
Mpuuga yennyamidde olw’abamu ku bakulembeze abavudde ku nsonga enkulu ezitwala eggwanga mu maaso nebadda mu kwerumaaluma era okukakkana ng’omusaayi guyiise.
Ate ye omubaka w’ekibuga ky’e Mukono era munnakibiina kya NUP, Betty Nambooze Bakireke, asabye abeesimbyewo okutuula bagonjoole ensonga zino n’obwegendereza kubanga singa tebakkaanya obuwanguzi basobola okubufiirwa.
Omu ku beemulugunnya, Erias Nkoyooyo ng’abadde yeegwanyiza bwammeeya bw’e Mukono, ategeezezza nti waabaddewo kyekubiira mu kugaba kkaadi era n’asaba abakulu okutunula mu nsonga ze.
Lugoloobi nga ye yafuna Kkaadi, yasabye munne akkirize okusalawo okwakolebwa basobole okutwala ekibiina mu maaso n’asuubiza nti singa okusalawo kw’abakulu okugenda okulangirira kujja ng’awanguddwa ye mwetegefu okumuwagira.
Enkaayana ez’ekika kino okuva mu bitundu ebyenjawulo zaawalirizza abakulu mu NUP okuyimiriza okugaba Sitampu eri abo abaagala okwewandiisa mu kakiiko k’ebyokulonda, bamale okuzigonjoola.