![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Omukayala-3-1024x683.jpeg)
Charles Peter Mayiga, Katikkiro wa Buganda asabye abaana okukomya okukaayanira ebintu bya bakadde baabwe oba balamu oba nga bafudde. Bwabadde mu lumbe lw’omugenzi Anne Namuddu e Lwaggulwe mu Buddu, Mayiga agambye nti abaana bateekeddwa okwekolera ebintu byabwe okusinga okutunuulira ebyabazadde baabwe.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Omukyala-2-1024x683.jpeg)
“Abasika mu Buganda tebasaana kulwanira kitiibwa yadde okunyaga ebyabo bye basikidde. Tebasaana kuba bakuluppya wabula okuba abantu ab’obuvunaanyizibwa. Temudda mu kukaayanira bintu byaba kitammwe. Kitaawo yakusomesa, yakusigamu empisa ez’obuntu bulamu, yakulaga abantu lwaki togenda n’okola ebibyo,” Mayiga bwagambye. Anyoyodde nti abantu okwagala ekitiibwa kibaviiriddeko okukola ebyambyoone ebikosezza eggwanga.
“Ekimu ku bintu byetusinga okwagala ky’ekitiibwa tukirwanira… Eriyo abalowooza nti ekitiibwa kiva ku buggagga kyova olaba ensi eno erimu ababbi bangi bemutiitiibya. Abalala balyazaamanya, balya ebyabalala tebaagala kusasula, abandi bapalappalanya nga banoonya obugagga basobole okufuna ekitiibwa. Naye ekitiibwa ekituufu kye tufuna ky’ekyokutuukiriza obuvunaanyizibwa obutukwasibwa,” Mayiga bwagambye. Omugenzi Namuddu yali munnaddiini era yayamba nnyo abaana bangi nga abaweerera mu masomero wamu n’okubayigiriza eddiini.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Omukyala-1024x683.jpeg)
Omusumba w’e Masaka Serverus Jjumba asiimye nnyo omugenzi Namuddu olw’obuweerezaabwe nagamba nti ajja kulwawo ng’ajjukirwa.
Kululwe Robina Ssentongo omubaka omukyala akiikirira Kyotera mu palamenti asabye abantu okukola ennyo wamu n’okwagaliza abalala. “Munno mwagalize bulungi ne Mukama naye ajja ku kwanguyiza,” Ssentongo bwagambye.