Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abakulembeze naddala abaamasaza okukola buli ekisoboka okugatta abantu ba Kabaka abaayawuddwa ennyo akalulu wamu n’ebyobufuzi ebibadde mu ggwanga mu kalulu ka 2021.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange- Mmengo bw’abadde asisinkanye abaami b’Amasaza olwaleero mu nsisinkano eno ebeerawo buli mwaka.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/165175432_3845600238851874_2117097057046471229_n.jpg)
“Mukole ekisoboka okutabaganya abantu, ffenna tukimanyi nti okulonda kuno okwakaggwa kwalekera abantu ebiwundu n’empompogoma, nakati abantu bangi bakyali mu kudaaga,”Katikkiro Mayiga bw’ ategeezezza.
Agasseeko nti abantu ba Kabaka basaana okubakumaakuma kuba eby’obufuzi bimala ne biggwa nga gubeera mulimu gwa mwami wa Kabaka okubanyiga ebiwundu.
“Abamu ebiwundu babifunye kubanga bayisiddwa bubi tugambe okukubwa, okuggalirwa mu makomera oba okuwambibwa. Oyinza n’okwesanga ng’eyawanguddwa ebiwundu byalina binene okusinga eyakubiddwa oluyi era bigendera ddala wala nnyo ku mutima.” Katikkiro Mayiga bw’alambise.
Mayiga abasabye obutakkiriza njawukana za byabufuzi kumala ku bantu baabwe mirembe babakumekume era babawabule n’okubatabaganya baleme kuba nti buli kiseera bakulembeza byabyafuzi ne we kiteetaagisa. Mu ntanda endala, Owek. Mayiga abakuutidde okutunuulira obusobozi nga banoonya abantu be banaakola nabo mu kutumbula amasaza gano kuba eng’anda, emikwano, abavujjirizi bazing’amya emirimu gy’essaza singa tebabeera nabusobozi kukola mirimu.
Ono abasabye okukolagana obulungi n’abakulembeze mu gavumenti eyaawakati basobole okutambula obulungi, kuba abamu ku bano balina n’ensimbi ate nga bonna bakola kimu kulaba ng’abantu ba Kabaka babeera bulungi.
Ono ategeezezza nti abakulembeze bangi boogera ebigambo biyitirivu naye ng’ebikolwa tewali era kibabeeredde kizibu otuukiriza ekyo kye boogera nabasiima olw’okugezaako okutuukiriza emirimu.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti wadde mu masaza agamu waliwo enjatika olw’obukulembeze obukulembeza ebifo ne butafaayo nnyo ku mirimu egirina okukolebwa naye basaanye bakulembeze emirimu n’obuvunaanyizibwa bwebalina okusinga ebitiibwa n’ebifo.
“Mbasaba twezimbemu omwoyo gw’okukolera awamu era tuguzimbe ne mu be tukulembera. Kino kijja kubasobozesa okutuuka ku bantu bangi ne mu baweereza bonna era kibasobozese n’okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono abasabye okumanya nti buli lwe bafuna ekifo babeera baweereddwa omugugu wadde gino gisobola okujjirako ekifo n’ebitiibwa ebisaanye okukuumibwa obutiribiri.
Katikkiro Mayiga abakunze okwettanira tekinologiya kyanguye emirimu mu bifo byabwe wamu n’okwanguwa okubayunga ku bantu be bakulembera.
Abakuutidde okugabana okugabana emirimu gisobole okwanguwa era beetunulemu ku ngeri gye batambuza emirimu gyabwe mu bitundu byabwe era bafube okwekwata ku nkola ey’omulembe omuggya omuli; obwerufu, obuyiiya, obunyikivu era bakole n’okwagala.