Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ky’amakomera mu ggwanga kivuddeyo ne kyegaana ebibadde biyiting’ana ku mutimbagano nti bagemye omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Sseggirinya ku mpaka kyagamba nti si kituufu.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine asinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire olwaleero n’ategeeza nti bino ebitambulira ku mutimbagano temuli makulu kuba Sseggirinya tagemebwangako. Kino kiddiridde amawulire okusaasaanira emitimbagano okusooka nga galaga nga Sseggirinya eyaddusibwa e Nairobi nga yakayimbulwa okuva e Kitalya oluvannyuma lw’embeera y’obulamu bwe okwonooneka.
Abanguya ebigambo bagamba nti ono yali aweereddwa obutwa ate abalala nti ddagala lya Corona eryali limukubiddwa ku kifuba lye libizadde. Okusinziira ku Baine tewali musibe yenna yafunye ddoozi ku ddagala erigema Ssennyiga Corona.
“Tewali ngeri yonna gye kisobola kuba kituufu nti Sseggirinya yagemeddwa kubanga tetunnatandika kugema basibe.” Baine bw’agambye bannamawulire.
Ono agamba nti bategeka okutandika okugema abasibe wakati wa June ne May ng’omuteeko gw’eddagala lino ogwokubiri gutuuse.
Asabye abantu okwesonyiwa eng’ambo ezitambulira ku mitimbagano kuba abakikola beenoonyeza byabwe.
Baine alaze ng’omuwendo gw’abasibe abalina ekirwadde kya Corona mu ggwanga lyonna bwe gukendedde nga kati bali 900 bokka ate nga bafiirwa omusibe omu yekka.