Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’ Amawulire n’Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke akuutidde abantu ba Buganda okutwala ebigambo bya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga bikulu ddala bavve kwabo abeenoonyeza ebyabwe.
Owek. Kazibwe agamba nti singa abantu ba Beene bakola kino bajja kusobola okunyweza Nnamulondo n’ ensonga ssemasonga ettaano olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Entanda eno, Minisita Kazibwe agiweeredde mu Bulange e Mmengo eri Bannabuddu n’ Abakooki abaleese oluwalo lwa bukadde obusobye mu 29 ku Lwokubiri.
Minisita Kitooke agumizza Obuganda ku mbeera y’obulamu bwa Beene nategeeza nti ali mu mikono emituufu era ajja kudda ku butaka mu budde obutali bwa wala nga bweyategeezezza Obuganda.
Ono akakasizza nga essaza lye Kooki bweribadde ekitundu ku Buganda okuviira ddala mu myaka gya 1696 ne 1740 oluvannyuma lw’omulangira Bwohe okuva e Bunyoro byeyakwatagana ne Ssekabaka Jjunju Ssendegeya naasaba abantu baayo okubeera obumu.
Owek. Kazibwe bano abasabye okujjumbira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo era beeyune Sikaala z’embuga eziri mu mbalirira y’omwaka guno basobole okusomesa abaana babwe olwo bafune ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka n’ensonga z’Obwakabaka ez’ebweru, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza abakiise embuga naabasaba okusigala nga bawulize eri Nnamulondo era bafube okusaasaanya amawulire amatuufu agava embuga.
Bano era Minisita abakuutidde bulijjo okugoberera okulambika okubaweebwa Katikkiro nakinogaanya nti byonna Kamalabyonna byayogera gabeera amazima naabasaba obutawubisibwa bamyoyo mibi.
Omubaka wa Bukomansimbi South, Godfrey Kayemba Solo ategeezezza nga bwebagenda okunywerera ku Nnamulondo era ng’ abavubuka bakwongera okulaga obuwulize eri Nnamulondo.
Ye Omukwanaganya w’essaza lye Kooki, Gertrude Ssebugwawo ategeezezza nti ng’ Abakooki beetegefu okwetaba mu nteekateeka zonna ez’Obwakabaka era tebajja kutiiriria Nnamulondo.
Eggombolola ezikiise embuga kuliko; Mutuba II Kifamba, Mutuba 19 Kasasa, Mutuba I Kyalulangira, nga Mutuba 18 Kibinge yenywedde mu ndala akendo n’oluwalo lwabukadde 15,160,000.