Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT), Maj. Gen.Mugisha Muntu, akakasiddwa nga omu ku bagenda okuvuganya mu kulonda kwa 2021 oluvannyuma lw’okwewandiisa.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/muntu-1.jpg)
Gen. Muntu atuuse ku kisaawe kya Kyambogo Cricket Grounds ku ssaawa 9 ez’olweggulo era n’asabibwa empapula ezibadde zimusemba. Oluvannyuma lwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama ne bakamisona okuzeekenneenya, ono akakasiddwa nga omu ku bagenda okuvuganya.
Ng’enkola bw’ebadde ku balala, Muntu asabiddwa okulonda Agenti agenda okukwasaganya kkampeyini ze era abawe enteekateeka yaabwe ate ateeke omukono ku ndagaano ekakasa nti agenda kugondera ebiragiro bya COVID-19.
Muntu aweereddwa abakuumi abagenda okumukuuma ng’ali mu kkampeyini zonna. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire oluvannyuma lw’okwewandiisa, asabye bannayuganda okumwesiga bamuwe akalulu.
Asiimye bannayuganda olw’okuwagira ekibiina kye wadde nga kikyali kipya wabula n’asaba akakiiko k’ebyokulonda okufuba okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, bannansi basobole okulonda mu mazima wamu n’obwenkanya.
Ono agambye nti singa bannayuganda bamwesiga nebamulonda, ajja kuteekawo embeera esobozesa abantu okukulaakulana wakati mu kusigaza ekitiibwa kyabwe.
Gen. Muntu awezezza omuwendo gw’abantu basatu abasunsuddwa olunaku lwaleero, ng’abalala kuliko; MunnaNRM Yoweri Kaguta Museveni ne Henry Tumukunde atalina kibiina kwagidde.
Ate ye John Katumba abadde alina okukakasibwa olwaleero, agobeddwa oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula ssente obukadde 20 mu bbanka ez’okwewandiisa.
Katumba ategeezezza nti obuzibu buvudde ku butaba na ‘TIN number’ kw’alina okusasulira naye nti alagiddwa addeyo oluvannyuma lw’okusasula ssente zino.