Bya Samuel Stuart Jjingo
MENGO – KYADDONDO
Obwakabaka bulabudde abantu okufaayo ku mpewo gye bassa nga bayita mu kufumba okutatyoboola butondebwansi.

Bino byogeddwa Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, bw’abadde asisinkanye abakungu okuva mu kitongole ekikolagana n’Obwakabaka okufuna obuuma obupima empewo ki Epic ne University of Wisconsin–Madison mu America.
Bano bazze okukebera essomero lya Ssaabasajja Kabaka, Lubiri Nnaabagereka Primary school engeri gye bafumbamu emmere eriibwa abayizi ku ssomero lino.
Oweek. Mariam Mayanja agamba okukyala kw’abakungu bano kwa mukisa munene kuba kujjidde mu mbeera nga eggwanga libakanye ne kaweefube w’okukendeeza okufumbisa enku n’amanda olw’obulabe omulka oguvaamu bwe guleeta eri abantu.

Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka Muky. Teddy Nabakooza Ggaliwango agamba nti essomero lino newankubadde likyakozesa enku okufumba, essigiri ezikozesebwa nongooseemu ekintu eky’obulabe kubanga kityoboola empewo abantu gye bayingiza munda.
Abakungu bano bakulembeddwamu Mw.Joseph Verbrugge, ategeezezza nga bwe kiri eky’obulabe abayizi okutambulira mu mbeera eno n’abasaba okuddayo ewaka bakulemberemu eddimu ly’okufumbisa enkola ey’omulembe nga tefulumya mukka.


site-verification-ok









