Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’eggwanga etegeezezza nga bw’enoonya omu ku bakuumi ba Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, Elber Ariho, annyonnyole ku kigambibwa nti ono aliko akakebe ka ttiyaggaasi ke yakubye mu bantu nga bali e Jjinja.
Poliisi egamba nti Ariho yalabikidde mu katambi ng’aliko akakebe ka ttiyaggaasi ke yakubye okuliraana emmotoka y’ekika kya Saluuni poliisi bwe yabadde etangira Bobi Wine okweyongerayo.
Omwogezi wa poliisi y’eggwanga Fred Enanga ategeezezza bannamawulire mu Kampala nti batandise okunoonyereza ku nsonga eno era nga ne Ariho yennyini bamunoonya.
Enanga agamba nti nga poliisi baagala okubuuza Ariho gye yaggye ttiyaggaasi ono era ababuulire ne b’ani abalala abamulina.
“Abakugu baffe bali mu kwekenneenya akatambi kano era twagala Ariho atubuulire gye yamuggye kuba kino kiraga nti abantu ba bulijjo bangi bamulina.” Ennanga bw’agambye.
Wabula okusinziira ku katambi kano akakedde okusaasaanira omutimbagano waliwo okubagana empawa ku wa ewatuufu akakebe kano we kafubutuse.
Ye Ennanga akiggumiza nti Ariho ye yakasusse ttiyaggaasi ono era alina okunnyonnyola.
“Akakebe kaavudde mabega, mujjukire omubaka Kyagulanyi yabadde atunuulidde abakuumi be naye ono okakasuka yakozesezza kupapa na kutya ne katagenda gye yabadde ayagala era ne kagwa ku boneti y’emmotoka emabega wa Kyagulanyi,” Enanga bw’annyonnyodde.
Ku bya Bobi Wine okulumiriza poliisi okwagala okumutta oluvannyuma lw’okukuba emmotoka ye amasasi eggulo mu bitundu bye Jinja,
Enanga ategeezezza nti poliisi terina nsonga lwaki yandyagadde okutta omuntu gw’emaze wiiki ebiri ng’ekuuma kubanga baliwo kukuuma bulamu bwa bantu so si busaanyaawo.