• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mmisa ya Ssekukkulu e Lubaga: Katikkiro Akubirizza Obuganda ku bubaka bwa Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
December 25, 2025
in Amawulire
0 0
0
Mmisa ya Ssekukkulu e Lubaga: Katikkiro Akubirizza Obuganda ku bubaka bwa Kabaka
0
SHARES
340
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Lubaga Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akulisizza abantu ba Buganda okutuuka ku Ssekukkulu, n’abasaba okwefumiitiriza ku bubaka bwa Kabaka obw’Amazaalibwa ga Yesu Kristo n’omwaka omuggya 2026.

Owek. Mayiga bw’abadde yetabye mu mmisa ya Ssekukkulu mu Lutikko e Lubaga, anokoddeyo ennyingo 6 mu bubaka bwa Nnyinimu n’asaba Obuganda okuzeefumiitirizaako wamu n’endala eziri mu bubaka buno. Zaanokoddeyo 6 ze zino;

1. Abakumaddembe obutatyoboola ddembe lya buntu.

2. Akakiiko k’ebyokulonda okukola omulimu gwako mu bwesimbu.

3. Okulonda n’obwegendereza olw’abo abayiwa ssente mu kalulu.

4. Tutereke emmere kubanga enkuba ntono mu mwaka guno.

5. Okufukirira ebirime.

6. Abakuumaddembe okukwata abo abasaddaaka abaana, n’ababazadde okukuuma obulungi abaana.

Kamalabyonna yebazizza Ssaabasumba Paul Ssemogerere akulembeddemu mmisa, era n’ayagaliza Obuganda okujaguza obulungi Ssekukkulu kyokka nga buli muntu ajjukire nti obulamu kikulu nnyo, era asabye buli omu okwekuuma okwewala obubenje.

Katikkiro ategeezeza nti 2025 gubadde mwaka gwa bibala ebiwerako kyokka ekisinze obukulu kwe kumaliriza Amasiro g’e Kasubi, bwatyo asabye Obuganda okwongera okunyweza obumu ne mu mwaka ogujja olwo kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko aggumire.

“Omwaka 2025 gubadde mulungi mu Bwakabaka, tusobodde okuggulawo amalwaliro, amasomero ga ‘Nusery’, abantu bajjumbidde okulima emmwanyi, kyokka kyenyiza okugamba ekisinze obukulu kwe kumaliriza Amasiro g’e Kasubi” Katikkiro Mayiga.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere mu bubaka bwe asabye abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe naddala nga balondoola engeri gye bakozesaamu omutimbagano, gw’agambye nti engeri gye gutalina musunsuzi, abaana bamaliriza balabye ebyesittaza ne bayiga emize ate egisobola okwewalika.

Ye Minisita JC Muyingo ku lwa Gavumenti eya wakati yebazizza Ssaabasumba obubaka bw’awadde abazadde ku nsonga za baana era naye n’agattako eddoobozi ng’akubiriza abazadde okukuuma abaana obulungi mu kiseera kino eky’oluwummula.Minisita Muyingo asinzidde wano era n’akubirizza abantu okukozesa ekiseera kino eky’amazaalibwa ga Kristo buli omu yekube mu mutima okukola ebyo ebitatabangula ggwanga, ono agamba nti eddembe kikulu nnyo eri buli muntu era tewali asaana kukuma mu bantu muliro naddala mu kiseera kino eky’akalulu.Okusaba kwa Ssekukkulu mu Lutikko e Lubaga kwetabiddwamu Omulangira David Kintu Wasajja n’Omuzaana Marion Nankya, atikkiro

eyawummula Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere, avuganya ku bwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu n’Omukyala Barbie Itungo Kyagulanyi, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Robert Kasibante, n’Abakristo abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.