Bya Ssemakula John
Mmengo
OLUBIRI lw’e Mmengo luwuumye Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, bw’abadde atuuka ku mukolo gw’amazaalibwa ge ag’emyaka 66.
Yenna ng’anekedde bulungi mu Kkanzu n’ekkooti, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuuse ku Lubiri ku ssaawa ttaano ng’awerekeddwako Nnaabagereka Sylivia Nagginda era ng’ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga n’abeebitiibwa abalala.
Omutanda asiimye n’alambula ab’amasaza awamu n’Amakula ag’enjawulo agaweereddwayo omuli; Weema, ssukaali, amatooke, ente n’ebirala era Omutanda mu ngeri ey’enjawulo asiimye Weema emuweereddwa abaami be abaamasaza.
Beene asinzidde wano n’asiima Weema emuweereddwa abaamasaza n’agamba nti ejja kumuyamba okutuuka ku bavubuka mu bitundu ebyenjawulo.
“Buli kiseera mba ng’amba abavubuka baffe nti bakole beefeeko. Era gano Amakula gajja kunnyamba okugenda eyo gye babeera abatasobola kujja eno mu bibuga. Makula malungi nnyo kubanga sisobola kugenda mu buli ssaza, buli ttawuni naye Amakula gajja kunnyamba okutambula okugenda mu bifo ebyo okusisinkana abantu baffe abalina obwetaavu, abalina okuyigirizibwa, abalina okuyiga enjiri y’omulembe guno.” Ssaabasajja Kabaka Mutebi bw’agambye.
Amazaalibwa g’omulundi guno gakwatiddwa wansi w’omulamwa “Abaami ffe basaale okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.”
Omukolo guno gwetabiddwako abeebitiibwa bangi okuli abaliko ba Katikkiro ba Buganda abaawummula; Mulwanyamuli Ssemwogerere ne Dan Muliika, baminisita ba Kabaka, abataka abakulu b’obusolya, abaamasaza n’abakungu abalala.
Mu bannabyabufuzi kubaddeko; Minisita J.C Muyingo, Omubaka Mathias Mpuuga, Medard Lubega Sseggona ssaako ababaka ba Palamenti eriko awamu n’abakiise mu lukiiko lwa Buganda.
Okusaba kukulembeddwamu akola nga Supreme Mufti mu kiseera kino, Sheikh Muhamood Kibaate. Oluvannyuma lw’omukolo okutuuka ku nkomerero yagwo, Beene agabudde abagenyi be ne Kkeeki era ne yeekubya ebifaananyi by’ekijjukizo n’abantu ab’enjawulo.