Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka-Buddu
Mmeeya omulonde owa Masaka City, Florence Namayanja alonze omumyuka we wamu n’olukiiko lwagenda okutambuza nalwo emirimu okusobola okutumbula eby’enkulaakulana mu Masaka.
Olukiiko luno alulondedde mu lutuula lwa kkanso olusoose olutudde ku Maria Flo Hotel mu Masaka era wano alaze nga bwebatandise edda okusomoozebwa olw’obutabeera nakitebe webalina kukolera mirimu wabula n’agumya bannamasaka nti bajja kubaweereza mu mbeera yonna.
Mmeeya Namayanja alonze akakiiko k’abantu bataano bagenda okukola nabo emirimu n’omumyuka we era nebeyama obutajuza bannamasaka.
Ku balondeddwa kuliko; Kkansala Achilles Mawanda owa NUP akikirira Mukungwe yeyalondeddwa Namayanja ku ky’omumyuka wa Mmeeya, Nansubuga Rossette owa NRM akikirira abavubuka yeyalondeddwa ku kifo ky’ ekikula ky’abantu, Tom Luyombya owa NUP akikirira Nyendo yeyalondeddwa ku kifo ky’ebyensimbi ate Nabukenya Jane Francis owa NUP akikirira Kabonera yeyalondeddwa kuky’okukulira eby’enkulakulana
Mmeeya Namayanja ategeezezza nti ekifo ky’akulira akakiiko akalina okulondoola eby’emirimu mu kibuga asoose ku gyesigaliza nga bwalondoola empeereza y’olukiiko luno lwalonze.
Namayanja ategezezezza nti mu kiseera kino tebalina webakolera mirimu kuba kkanso webadde etuula wakayanirwa omuntu omu agamba nti yagulawo.
“Nasanga mmeeya bamugobye mu woofiisi era ekiwandiko nkirina era nti ekizimbe tulina okukivaamu nesaagala kugenda kunsika ngoye nga nwana byesitegera. Mukiseera kino nkolera waka era njagala city elowooze ku kuzimba ekitebe wabula nsoose okusaba ttawuni Kkiraaka anoonye ekifo eky’enkalakkalirira kyetusobola okupangisa,” Mmeeya Namayanja bw’agambye.
Kkansala Mawanda kulwa banne asabye abalondeddwa okukola ennyo baweereze bannamasaka era bakwatagane ne mmeeya okusobola okutuusa Masaka ku ntikko.