Bya John Ssemakula
Kampala
Poliisi evuddeyo n’egamba nti minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, egenda kufulumya olukalala lw’abantu bonna abazze bakwatibwa nga Minisita w’ensonga ez’omunda, agenda ku luwa Palamenti akadde konna.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okuvaayo n’ategeeza nga bwe wataliiwo muntu yabuziddwawo wabula nti ab’ebyokwerinda balina abantu be babadde bakutte era n’alagira amagye okuwaayo olukalala lw’abakwate bonna abantu baabwe basobole okumanya gye bali.
Wadde ekiragiro kino Pulezidenti era omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko yakiwa naye kati Ssabbiiti ziweze nnamba nga tewali kyafulumiziddwa.
Olwaleero omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abuuziddwa bannamawulire annyonnyole ku kasoobo akaliwo mu kufulumya olukalala luno naye nagamba nti oluvannyuma lwa Sipiika naye okulagira olukalala lufulumizibwe, Minisita w’ensonga ez’omunda agenda kufulumya mu bwangu.
“Ekiragiro kya Sipiika tukyakiriko era Ssabbiiti ewedde Minisita yasisinkanye abakulira ebitongole ebyenjawulo era bano baliko olukalala lwe bamuwa, ono mu bwangu agenda kulwanjulira Palamenti,” Enanga bw’agambye.
Ono yagambye nti tasobola kuwamba buyinza bwa Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga kuba olukalala alulina era ng’akadde konna waakuluwa Palamenti. Kigambibwa nti abakwate balina kye bamanyi ku bwegungo obwali mu ggwanga wakati wa November 18 ne 19 bwe baali bawakkaanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu era nti bano balina n’obulala bwe baali bategese mu kulonda kwa January 14.
Bwabuuziddwa ku ky’amagye okulemwa okukkaanya ne poliisi ku muwendo omutuufu ogw’abakwate nga kye kivuddeko olukalala okulwawo okufulumizibwa, Enanga agambye nti byonna byakuddibwamu Minisita ng’afulumya olukalala. “Olukalala lwogera ku bantu abaakwatibwa, abavunaanibwa wamu n’abayimbulwa, ebisingawo Minisita ajja ku bibategeeza.” Enanga bw’annyonnyodde.
Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okuvaayo ne balaga ng’abantu baabwe bwe batwalibwa ab’ebyokwerinda nga n’okutuusa kati tebamanyi wa gye bali era basuubira nti bano bali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa.