Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu erabudde bannayuganda ku kubalukawo kw’ekirwadde kya Polio mu ggwanga oluvannyuma lw’okwekebejja kwe baakoze mu makeberero ag’enjawulo mu Kampala n’ekizuulibwa ng’akawuka kano weekali mu Kampala.
Okusinziira ku Dayirekita w’ebyobulamu mu Minisitule, Dr. Henry G. Mwebesa, ebyakebeddwa byaggyiddwa mu bifo ebisengejja kazambi okuli Bulogoobi ne Lubigi.
Ebifo bino okuli; Bugoloobi ne Lubigi bye bimu ku bisinga okukung’aaniramu obucaafu okuva mu Kampala ekikakasa okubeerawo kw’akawuka kano mu Kampala.
“Ebyavudde mu kunoonyereza okwakoleddwa aba Uganda Virus Research Institute (UVRI) byakakasizza nga bwe waliwo akawuka ka polio ekika kya ‘Polio Virus type 2(cVDPV2). Akawuka kano akaazuuliddwa, kalina akakwate n’ekika kya cVDP2 ekyazuuliddwa e Sudan.”Mwebesa bwe yagambye.
Ono yagasseeko nti kati bali bulindaala era banoonya mu malwaliro ag’enjawulo okulaba oba waliwo omulwadde wa polio era beeteegereza abaana bonna abali wansi w’emyaka 15 abalina akabonero akalaga okunafuwa mu mikono gyabwe n’amagulu.
Dr. Mwebesa agamba ntu Uganda ne Afirika yonna yali yakakasibwa ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation (WHO) nga tekyalina kirwadde kya Polio mu August 2020. Naye ate ekirwadde kino kyazzeemu okuzuulibwa mu mawanga ageetoolodde Uganda okuli; Kenya, South Sudan ne DRC.
Okusinziira ku Dr. Mwebesa, okubalukawo kw’ekirwadde kino kuvudde ku bantu butajjumbira kugemesa baana mu ggwanga olw’ekirwadde kya COVID-19 ekyateeka eggwanga ku muggalo.
Ekirwadde kya Polio kitambuzibwa okuva ku muntu omu kudda ku mulala nga kiyita mu kazambi, amazzi oba emmere ebiteekebwa mu lubuto nga birimu obubi.