
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, ategeezezza nti wadde bafunye okusoomoozebwa mu kufuna eddagala naye kino tekijja kulemesa ggwanga kuva ku muggalo.
Dr. Aceng yagambye nti tebagenda baggulawo kimu ku kimu wadde nga bakyalemeddwa okufuna eddagala erigema omuwendo ogwegasa.
Bino Aceng yabyogeredde mu kakiiko ka Palamenti akaateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 eggulo ku Lwokusatu.
“Mujjukira mu muggalo ogwasooka, twaggulawo ebintu kimu ku kimu nga tetunnagema bantu era bwetutyo bwe tujja okuggulawo n’omulundi guno.” Dr. Aceng bwe yannyonnyodde.
Minisitule y’ebyobulamu okusooka yali esuubira nti ejja kuba emaze okugema abantu ebitundu 50 ku buli 100 okusobola okuggyawo omuggalo.
Okusinziira ku Dr. Aceng waliwo ebbula ly’eddagala erigema Corona ku katale k’ensi yonna era eggwanga terisobola kusigala ku muggalo nga ate n’eddagala erigema abantu terirabikako.
“Tetusobola kulinda kugema bantu bukadde 22 nga tetumanyi watuufu we tugenda kuggya ddagala ligema bantu.” Dr. Aceng bwe yagasseeko.
Bino we bijjidde ng’eggwanga lirindiridde okuva ku muggalo gw’ennaku 42 era amaaso gonna galinze kwogera kwa Pulezidenti Museveni ku lunaku Lwokutaano okulaba oba omuggalo guggyibwawo.
Ebikyafulumiziddwa biraga nti Minisitule y’ebyobulamu yaakagema abantu 1,135,916 bokka ku bukadde obusoba mu 45.









