Minisitule ekola ku by’obulamu etegeezezza nti omubaka wa palamenti omu yasangiddwamu akirwadde kya ssenyiga Kolona.
Olwaleero abakungu mu minisitule eno babadde balabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akakola ku bisuubizo bya gavumenti webategeerezza nti omubaka eyasangibwamu covid-19 ali mu ddwaliro afuna bujjanjjabi.
Ssabbiiti ewedda ababbaka 300 wamu n’abaweereza mu Lukiiko lw’eggwanga baakeberebwa ekirwadde kya coronavirus.
Ababaka babadde baagala okumanya oba kubbo kuliko n’omu alina ekirwadde kino.
Omubaka akiikirira essaza ly’e Bujenje Patrick Kasumba yabuuzizza abakungu bano lwaki alizaati zaabwe zirudde okufuluma.
Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Dr Joyce Moriku Kaducu yategeezezza ababaka nti tebalina kweraliikirira kubanga munnabwe ayasangibwamu obulwadde agenda akuba ku matu.
Kaducu ono yasabye ababaka okulya obulungi wamu n’okwerabirira basobole okulwanyisa ssenyiga Kolona.
Akulira eby’obujjanjjabi mu minisitule eno Dr Henry Mwebesa yakakasizza nti ddala waliwo omubaka eyasangibwamu ekirwadde.
Kyokka ono yeewunyizza butya bannamawulire bwebaafuna erinnya ly’omubaka ono okutandika okumuwandiikako.
Mwebese yagambye nti ababaka bajja kufuna alizaati zaabwe obutasukka enkya ku Lwokuna.
URN