
Bya Shafik Miiro
Kyango – Mawokota
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Oweek. Dr. Anthony azzeemu okulambula Obutaka era olwaleero abadde Kyango mu Mawokota ku butaka bw’Ekika kya Kayozi n’ekya Kasimba naasaba abakulu b’ebika mu Buganda okufaayo banyweze obukulembeze bw’ebika byabwe.
Owek. Wamala agamba singa bakola kino bajja kusobola okubikulaakulanya ku mitendera egy’enjawulo okuli Essiga, Omutuba, Ennyiriri okutuuka ku nju, okwanguya okulondoola abazukkulu bonna ab’Ekika n’okusobola okubateekerateekera obulungi.
Minisita Wamala akubirizza abakulembeze okuwandiisa bazukkulu baabwe, okuwandiisa olukiiko lw’Abayima b’Ekika, okulongoosa Obutaka n’okugunjawo enteekateeka ez’enkulaakulana mu Bika, omuli okuyambako abazukkulu mu kusoma, obweggasi, okulima ku mbuga z’Ebika n’okukuuma Ettaka ly’Embuga z’Ebika.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba agamba nti okulambula Obutaka kiyambye nnyo okumanya ebifa ku mbuga ez’enjawulo era basobodde okuzuula ebisoomooza eby’enjawulo mu Bika nga kumpi bifaanagana era kino kigenda kuyambako mu kubinogera eddagala.

Nnamwama Augustine Mutumba era yeebaziza Ebika ebifubye ennyo okununula n’okukuuma Ettaka ly’Embuga z’Ebika, neebyo ebimaze okwewandiisa mu nteekateeka ya ‘Bika Trust’ era wano asabye ebitanaba kwewandiisa nabyo okukikola mu bwangu okusobola okunyweza obwannanyini bw’ebintu by’Ebika.
Ono era yeebaziza nnyo abazukkulu abajjumbidde okuwagira enteekateeka z’Ebika byabwe n’asaba bonna balala okulabira ku bannaabwe beetabe mu mirimu gy’Ebika.
Omwami w’Essaza Mawokota Oweek. Sarah Nannono Kaweesi asiimye nnyo enteekateeka eno ey’okulambula Obutaka bw’Ebika gy’agambye nti egenda kuyamba nnyo mu kumanyisa n’okwagazisa abazukkulu Obutaka bwabwe, era yeebaziza Bajjajja abafuddeyo ennyo okutuuka ku Bazukkulu baabwe. Ayongeddeko nti singa buli muntu amanya ensibuko ye kijja kwongera okunyweza olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.

Okulambula kuno kusookedde ku butaka bw’Ekika ky’Akasimba e Nvule Kyango ate oluvannyuma e Nsasa, Kyango era Abataka bombi Jjajja Kabazzi Ssempuuma David Martin Mitti owa Kasimba ne Jjajja Kafumu Kizito Batuuka owa Kayozi basiimye nnyo enteekateeka eno eyatandikibwawo Obwakabaka kubanga ejja kuyambira ddala okuwanyisiganya ebirowoozo ebigenda okuyamba okuzza amaanyi mu Bika.
Enteekateeka y’okulambula obutaka bw’Ebika eby’enjawulo ekyagenda mu maaso, era esuubirwa okukolebwa mu Bika byonna.









