Bya URN
Minisita mu gavumenti eyawakati atwala ekibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala agambye essente gavumenti zewa Kampala tezimala naddala nga kuyyo buli muntu kwasookeza amaaso. Nga alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’obwapulezidenti mukwanjulira ababaka embalirira ya KCCA, Betty Among yagambye obuwumbi 285 obutekeddwa mu mbalirira y’omwaka 2020/2021 ntono nnyo ddala okusobola okukola emirimu mu Kampala. Yagambye nti obuwumbi 302 obwetaagibwa okukola ku mirimu egy’enajwulo mu mbalirira eno tezaateereddwamu. Yagambye n’obuwumbi obulala 23.5 n’endala obuwumbi 47 obwetaagibwa okukola ku nguudo wamu n’emyala mu kibuga. Minisita era yagambye beetaaga obuwumbi obulala 20 okusobola okuggalawo gyebayiwa kasasiro e Kiteezi wamu n’obulala 80 okusobola okuggula amakubo gyebanaayita okutwala kasasiro e Ddundu mu kifo ekiralalkyebaagula. David Bahati, Minisita omubeezi ow’ebyensimbi yategeezezza nti KCCA baggya kugyongerayo kussente wabula era zino zijja kuba ntono nnyo kuzebaagala.