Abaseesa n’Abalezi b’emirimu gy’Obwakabaka mu Masaza, bakubiriziddwa okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe obukulu mu buweereza bwe balimu.

Mu bibasuubirwamu kwe kuseesaamu amasaza gamanye bulungi bye balina okukola omuli; okukola ebiwandiiko ebirungamya entambuza y’emirimu, okutuukiriza amakatala, okulaba nga abaami ba Kabaka batuuza enkiiko era bassa mu nkola ebiteeseddwako, n’okulondoola enteekateeka z’obwakabaka okulaba nga zituuka ku bantu ba Kabaka.
Bw’abadde abasibirira entanda, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, abasabye okukozesa obukugu balage Abaami emirimu bwe gitambula nga beesigama mu kitongole bakubirize ab’emiruka, abatongole, n’e ggombolola obutabongoota wabula bakakase enteekateeka zigguka omuli, oluwalo, emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, eby’obulamu n’ebirala.
Minisita Kawuki bano era abakubirizza okufunayo ekyalo kyebasobola okwenyumirizaamu mu kukiyambako okukyuusa embeera z’e kyalo ekyo, kikole nga eky’okulabirako, wabula abasabye babeere beesimbu, okutunula enkaliriza ku bikolebwa, okulondoola enkungaanya n’ensengeka ya amakula ga Kabaka, era beewale okulya mu Kabaka olukwe naye bayimirire ku mazima.

Bino byonna bibadde mu lukiiko Minisita Joseph Kawuki mw’asisinkanidde abaweereza bano mu Bulange e Mengo.









