Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ekikula ky’abantu, Frank Tumwebaze, asabye poliisi ekendeeze ku bukuubagano bw’erabikiramu n’oludda oluvuganya gavumenti eyaawakati, nga bagezaako okukwasisa ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
Tumwebaze agamba nti obukuubagano obubeerawo wakati wa bannabyabufuzi ne poliisi bumaliriza bukoledde ab’oludda oluvuganya nga buli lwe bubaawo abantu babateekako ebirowoozo.
Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, abeesimbyewo balina okukuba enkung’aana z’abantu batontono abatasukka 70 era nga tebakkirizibwa kuyisa bivvulu mu bitundu gye babeera balaze.
Bannabyabufuzi bangi naddala ku ludda oluvuganya balumirizza poliisi okufuuka kyesirikidde ku ba NRM abakuba enkung’aana z’abantu abangi ne basalawo okuyigganya ab’oludda oluvuganya.
Bw’abadde ayogera ku bibaddewo nga poliisi egumbulula abawagizi ba Forum for Democratic Change (FDC) ne Patrick Oboi Amuriat, Tumwebaze agambye nti akaseera katuuse poliisi ette ku bigere ku ngeri gy’ekwatamu ensonga.
Tumwebaze annyonnyodde nti poliisi esaanye erowooze ku ky’okuleka ab’oludda oluvuganya.
“Mu bafudde ensonga enkulu ate nga tebalina kye bali kati abantu batandise okubakwatirwa ekisa, kano kazannyo kaabwe era kibakolera kubanga kibakuumira mu mawulire, mufune engeri endala gye musobola okukolamu emirimu,” Tumwebaze bw’agambye.
Bino we bijjidde nga eggulo ku Ssande, Ssaabawandiisi wa NRM, Kasule Lumumba, yatabukidde poliisi olw’okuleka bannakibiina kya NRM abamenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona, amaanyi ne bagateeka ku b’oludda oluvuganya bokka.
Kati ekirindiddwa kwe kulaba oba nga poliisi eneegondera ebiragiro bino wakati ng’abeesimbyewo ab’enjawulo batandise okutabaala eggwanga nga banoonya obululu.