
Bya Musasi Waffe
Masaka
Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako, Sylvia Nvanungi ataddewo Olwokusatu luno okutandika okuwulira omusango, minisita w’ebyokwerinda n’ensonga z’abazirwanako, Vincent Ssempijja gweyawaabidde omubaka wa Kalungu West, Francis Katabaazi nga ayagala amuliyirire.
Minisita Ssempijja yatutte omubaka Katabaazi Katongole mu kkooti nga amulanga okulemererwa okumusasula ssente z’engasi oluvannyuma lw’okuwangula omusango gw’ okuddamu okubala obululu.
Nga ayita mu bannamateeka be aba Ntegyerreize, Ingura & Musiimenta Advocates, Ssempijja ayagala obukadde obusoba mu 94 (94,302,500) asobole okusasula bannamateeka be abaali bamuwolereza mu musango guno.
Kinajjukirwa nti mu January, 2021 oluvannyuma lw’akalulu ka bonna, minisita Ssempijja yaddukira mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwa Katabaazi era nasaba kkooti akalulu kaddemu okubalibwa.
Omulamuzi yakkikiriza era obululu nebuddamu okubalibwa mu maaso g’omulamuzi Charles Yeteise. Ssempijja yali ategeezezza kkooti nga abantu be abaalina okukuuma akalulu bwebagobwa mu bifo ebirondebwamu 36 biramba nekiwa gweyali avuganya naye ekyanya okubba akalulu.
Wakati nga Kkooti egenda okutandika kyazuulibwa nti akabookisi akali kavudde ku St Jude Primary School kaali kakwatiddwamu era bwetyo nerangirira Katabaazi ng’omubaka omujjuvu.
Kati omulamuzi Nvanungi ku Lwokusatu wakutunula mu nsonga zino, Ssempijja mwayagala aliyirirwe.
Wabula omubaka Katabaazi nga ayita mu bannamateeka be aba Mbabali Jude & Company Advocates bawadde Ssempijja ennaku 2 okuggyayo omusango guno oba sikyo nabo bamugguleko omusango nga basaba kkooti emulagire abaliyirire.
“Nze nandibadde nsaba okuliyirirwa kuba nze nawangula okuddamu okubala akalulu naye nabyesonyiwa kuba nali maze obudde bungi mu kkooti nensalawo okumuleka naye bwaba bwakoze nange ngenda kusaba andiyirire obukadde 200,” Katabaazi bw’annyonnyodde.
Kinajjukirwa nti omubaka Katabaazi yafuna obululu 12,198 ate Ssempijja eyali omubaka w’ekitundu ekyo era bwebaali ku mbiranye nafuna obululu 10,865.









