Musasi waffe
Minisita mu gavumenti ya Kabaka akola ku nsonga z’abavubuka, emizannyo n’okwewumuza, Oweek. Henry Moses Sskabembe Kiberu agambye nti omuntu yenna okujjukirwa ng’amaze okufa, tekyesigama ku myaka gyawangadde.
Okwogera bino, Ssekabembe abadde yetabye mu kuziika omugenzi Robert Nsubuga Kitaka, mutabani w’omwami Kitaka Francis omuwanika w’Olukiiko Oluteekateeka Emipiira gy’Amasaza.
Omugenzi yabadde omwana omukulu nga afiiridde ku myaka 25.
“Enkonyogo eno ebadde ya muvule tebadde ya nsoga soga. Mukama akunyweze n’omukyala muyite mu kiseera kino nga temuseeseetuse ku nzikiriza zammwe, olw’abaana bammwe abasigaddewo; munywere,” Ssekabembe bwagambye.
“Ekikulu ssi bbanga lyetumala ku nsi naye byetusobola okukola mu bbanga Katonda lyakuwadde. Mubeere bantu balamu, yagaliza banno nabo bakwagalize, mufube okutaasa abaana bano wamu n’abazzukulu,” Ssekabembe bwagambye.
Asiimye nnyo omwami Kitaka olw’obuweerezaabwe eri Obwakabaka wamu n’eggwanga Uganda.
“Kkiriza okusaasira kwaffe nga banno boowereza nabo, olw’okufiirwa kuno. SSanyu lya buli muzadde okuteekateeka omwana we asooka, okulaba ng’amusomesa, okufuba okumuyirigirza kyonna kyomanyi, liba saanyu ly’amuzadde okulaba ng’omwana ono avaamu,” Ssekabembe bwagambye.
Robert Kitaka yazaalibwa mu 1994 nga yafudde Ku olw’omukaaga esabbiiti ewedde, obulwadde bwa Sukaali.
Azikiddwa mu ssaza ly’e Buddu mu disitulikiti ye – Bukomansimbi Ku kyalo Kanoni.
Minisita awerekeddwako Abakiise ku Lukiiko lw’Amasaza nga bakulembeddwamu ssentebe waambwe, Ssejjengo Sulaiman – Ssentebe w’Olukiiko Oluteekateeka Empaka zino nga ate ye Mayor wa Ndejje Division. Omutaka Magoba yakiikiridde Akakiiko ka Appeals Committee mu Buganda.
Okusinziira ku bazadde b’omugenzi Omwaka oguwedde yagenda mu ddwaliro naasangibwa ne sukaali era naafuna obujjanjabi obutandikirwako naye emyezi ebiri emabega, embeera yatandika okutabuka naatandika okukogga.
Ennaku bbiri eziyise obulwadde bwatabuse era bweyaganze mu ddwaliro bazzizza mawulire ga kufa.
.