Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Minisita wa Buganda ow’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, atongozza akakiiko ak’omupiira gw’ebika ogw’ebigere akagenda okukuza empaka zino era n’okwongera okusitula omutindo gwazo.
“Enteekateeka eno egenderedde okusitula omutindo, okuzza ekitiibwa, ettutumu n’abawagizi okudda mu kisaawe mu kikopo kino eky’ebika. Ng’Obwakabaka tulowoozezza nti kikulu okuvaayo n’enteekateeka ennung’amu eteekeddwa mu buwandiike. Ffe tujja ne tuweereza naye tuli bayise ng’omuntu yenna anajja wano gy’ajja okugoberera okuzimba ekikopo kino.” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe olukiiko luno olulondeddwa luliko abantu 8 era nga be baweereddwa eddimu ly’okulaba ng’emipiira gy’ebika gikwata abantu omubabiro.
Minisita Ssekambebe ategeezezza nti Julius Kabugo yalondeddwa nga Ssentebe, amyukibwa Ssejjengo Sulaiman ne Samuel Mpiima agenda kubeera muwandiisi wa lukiiko.
Abalala abatuula ku lukiiko luno kuliko; Hassan Badru Zziwa, Hajji Sulaiman Magala, Katabira David Davis, Samuel Mpoza ne Katikkiro w’ekika ky’Enseenene.
Minisita ategeezezza nti obuvunaanyizibwa bw’olukiiko luno butandikiddewo era bano baweereddwa okutuuka mu myezi Gwokusatu okuvaayo ne alipoota ku ngeri gye bagenda okutambuzaamu emirimu gyabwe, esobole okwanjulirwa kabbineeti.
Amyuka Ssentebe w’olukiiko luno, Sulaiman Ssejjengo, yeeyamye eri Minisita nti bajja kukola byonna okulaba nti omuzannyo gw’omupiira gw’ebika gudda engulu kuba bagumanyi era babadde bagulaba.
“Omukisa ogutuweereddwa tugenda kugukozesa Mukama wange nga twebuuza ku bantu abangi ennyo abakwatibwako ensonga eno, kuba ebika ebisukka mu makumi ataano birimu abantu bangi era bangi ku bano emipiira gino bagitunuulidde.” Ssejjengo bw’agambye.