Bya Doreen Nakagiri
Mmengo
Minisita w’Abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, akubirizza abavubuka bulijjo okwebuuzanga ku byafaayo basobole okubaako bye bayiga era bagende mu maaso wamu n’okukulaakulanya Obwakabaka.
“Kaba kabaate omuntu yenna bwateebuuza ku byafaayo era kaba kabaate omuntu bw’otayigira ku ebyo by’olaba era kaba kabaate omuntu bw’oyita mu nsi muno nga tolina kye weegomba.” Owek. Ssekabembe bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde atikkula Amakula okuva mu kitongole kya Brooks FARM LTD, ekikulirwa Denis Bugaya omuweereza mu Buganda Land Board ku mukolo ogwabadde mu lubiri e Mmengo.
Ono yabajuliza ebyafaayo by’abantu ba Buganda abaakola ennyo okulaba nga mu mbeera yonna Obwakabaka buzimbibwa wakati mu kwolesebwa kwe baalina ne biyamba okunyweza Obwakabaka.
Minisita Ssekabembe yategeezezza nti bano baateekawo enkola n’emitendera ebintu kwe bitambulira era ne beekwata ku nkola ya Bulungibwansi era ne basalawo okulabirira Kabaka waabwe era ng’eno y’emu ku nkola ezaavaako enkola y’okuleeta Amakula embuga.
Owek. Ssekabembe bano era abasabye okufaayo batuukirize ebirooto byabwe awatali kusika muguwa kibayambe okukuuma enkolagana wakati waabwe.
Enkola ey’okuleeta Amakula ly’erimu ku makubo Obwakabaka mwe buyita okutuukiriza ensonga Ssemasonga esooka ey’okukuuma ate n’okunyweza Nnamulondo.
Enteekateeka eno ebaawo buli Lwakuna ng’eggulo ekitongole kya Brooks Agro farm okuva mu ssaza Mawokota mu ggombolola ya Musaale -Buwama lwe kyakiise Embuga.
Owek. Ssekabembe yakiikidde ensingo abakulembeze ensangi zino abalemye okuba ekyokulabirako ekirungi eri abavubuka kye yagambye nti kyakuzaalira eggwanga akabasa.
Ate ye Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu, yasinzidde eno n’awa abazadde amagezi mu kukuza abaana beeyambise eng’unjula bajjajjabwe gye baakozesanga nga mu kino lwe bajja okusobola okuteekateeka eggwanga ery’enkya erituukiridde.
Eyakulembeddemu abakiise Embuga, Micheal Ssebowa, yategeezezza nti okukiika Embuga baakikoze kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe ng’abantu ba Beene kuba gye gimu ku mirimu gyabwe .