Bya Francis Ndugwa
Kkooki
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, asabye Abakooki okwettanira ebibiina by’obwegassi bakulaakulane mu kifo ky’okwekubagiza.

Owek. Ssekabembe agambye nti ebibiina bino ly’ekkubo erigenda okubayamba okwesitula bawone obwavu.
Okusaba kuno Minisita Ssekabembe akukoledde ku ssomero lya St. Francis P/S e Buyamba mu ggombolola y’e Ddwaniro mu Kkooko e Rakai.
Minisita abadde agenze kusisinkana abavubuka okubazimba n’okubalaga bwe bayinza okwenyigira mu bukulembeze mu mitendera egy’enjawulo.
Ensisinkano eno ebadde mu maka ga Kiwanuka Yokana Kaggwa n’omukyala Nakabiito Norah Kaggwa.
Minisita Ssekabembe asabye Abakooki okugunjula abaana baabwe era babakulize mu ddiini n’obuntu bulamu kibayambe okubeera ab’omugaso mu nsi.
Owek. Ssekabembe alaze obwennyamivu olw’embeera essaza lya Kkooki mwe liri naye n’abasaba okubeera abagumiikiriza era banyweze enkolagana n’Obwakabaka bwa Buganda.
Ssentebe w’olukiiko olulondesa ebibiina by’ abavubuka mu Buganda, Joseph Ssenkusu Balikuddembe alaze abavubuka obukulu bw’abavubuka mu Buganda basobole okukulaakulana.
Akwanaganya essaza lino ku lwa Ssaabasajja Kabaka Gertrude Ssebuggwaawo Nakalanzi aloopedde Minisita Ssekabembe nga bwe waliwo okusika omuguwa n’abantu abamu mu ssaza lino naye n’asuubiza obutava ku mulamwa.
Ate Ssentebe w’abavubuka e Kkooki Bwemi Julius, alaze ebiruubirirwa byabwe n’ebisoomooza okuli; okusibibwa, obwavu n’amakubo amabi, n’asaba Obwakabaka obakwatizaako.
Minisita Ssekabembe bw’avudde e Kkooki n’agenda ku kyalo Kakunyu mu ggombolola y’e Kabira mu Kyotera okulambula abalimi mu kibiina kya Nalubaale Coffee Farmers Co-operatives abalima emmwanyi n’ebitooke.
Bano abasabye okwongera okukola ennyo kibayambe okukulaakulana.