Bulemeezi
Minisita w’abavubuka, ebyemizannyo n’okwewumumuza mu Buganda, Owek. Henry Moses Sekabembe kiberu, alabudde abavubuka mu Buganda naddala mu ssaza ly’e Bulemeezi ku kabi akali mu kuzannyisa obukulembeze nga balonda abantu abataliimu nsa.

Owek. Ssekabembe okulabula kuno akukoledde ku kitebe ky’essaza e Bbowa mu disitulikiti y’e Luweero leero ku Lwomukaaga bw’abadde ababangula ku kunyweza n’okutumbula embeera n’obukulembeze bw’abavubuka mu kitundu kino.
Minisita Ssekabembe agambye nti wakati ng’abavubuka bakyasaagira mu bukulembeze, beerabidde nti obulamu bwabwe kwe bwesigamye n’abasaba beegendereze abantu be balonda okubakulembera.
Abasabye ku mitendera gyonna basoosowaze abaana enzaalwa z’ebitundu era abafaayo ku nsonga za Buganda, kubanga bano be bamanyi ebizibu by’ebitundu bino era abajja okubirwanirira.
Minisita Kiberu akyukidde abeesimbyewo n’abasaba okuwa abavubuka ebintu ebibagasiza awamu okusinga okubagulira omwenge n’okubawa ebintu omutali makulu, ekintu ekyongedde okuttattana embeera zaabwe.
Ssekabembe asabye abavubuka okukomya okwekubagiza, bekkiririzeemu kibayambe okukyusa endowooza n’embeera zaabwe ko n’okuteekateeka obulamu bwabwe n’abaana baabwe, basobole okubweyagaliramu.
Ono abawadde amagezi okuzimba obukulembeze okuva ku ssaza okutuuka wansi ku byalo kiyanguye entambuza y’emirimu mu ssaza lino era n’abasaba okukola ebibiina eby’obwegassi kibayambe okutereka akatono ke bafuna ate bakasige.
Kkangaawo Ronald Mulondo asinzidde wano n’asaba abavubuka okukomya obutiitiizi naye bawase, kibayambe okwezimba kubanga omusajja akula buvunaanyizibwa.
Omukolo guno, gwetabiddwako abeebitiibwa omuli ssentebe w’olukiiko olufuga ebibiina by’abavubuka mu Buganda, Owek. Yozefu Balikuddembe Senkuusi, akulira abavubuka mu ssaza ly’eklezia erya Kasana- Luweero, Fr Bonny Ssenteza, olukiiko lw’abavubuka olw’essaza, olukiiko lw’essaza olukulu n’abamagombolola.