Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku bavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu asabye abantu ba Kabaka okukozesa ennaku ezisigaddeyo okwefunira omujoozi olwo balinde kimu ssaawa Omutanda gy’agenda okusimbulirako abantu be.
Owek. Ssekabembe ategeezezza bannamawulire abamusanze mu Bulange e Mmengo nti, kisaanidde okufuna obujoozi buno ku 15,000 ne batagirinda kuggwaawo olwo gitandike okutundibwa ku bbeeyi eyawaggulu.
Ono era asiimye abantu abaweddayo okujjumbira enteekateeka za Buganda okusobola okulwanyisa akawuka ka Mukenenya nga bagula emijoozi gino.
“Mukimanyi bulungi nti tusigazza ennaku bbiri zokka okutuuka ku mazaalibwa ga Mukama waffe Ssaabasajja Kabaka. Njagala okwebaza abantu Ssekinnoomu, amakampuni n’emikwano gya Buganda, olw’okujjumbira enteekateeka eno.” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Owek. Ssekabembe abantu abasabye okwewala okukozesa emijoozi emikadde kuba buvunaanyizibwa bwabwe okuzimba Buganda nga bayita mu nteekateeka nga zino, olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.