Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Minisita w’ebyemizannyo, okwewummuza n’abavubuka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, akunze abantu ba Ssaabasajja Kabaka okugula emijoozi gy’emisinde gya Kabaka Birthday Run egy’omwaka guno kisobozese kaweefube w’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya okutambula obulungi.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/43427147-0189-4594-95f6-352c6c20068e-1024x683.jpg)
Owek. Ssekabembe agambye nti wadde ensi yonna essira eritadde ku kulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona, naye olugendo lw’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya lukyali lunene.
Bino Ssekabembe abyogedde akwasa ab’eggombolola ya Ssaabawaali Kalagala -Masiki okuva e Bulemeezi, emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya mitwalo 70 ku Bulange olwaleero.
“Njagala okukunga Obuganda bwonna, amagombolola gonna gakole kye mukoze, amasaza gonna, ebitongole ebisoboka naddala ebyo ebiri mu lwokaano luno okulwanyisa Mukenenya, bannabyabufuzi n’abantu Ssekinnoomu, okuwagira kaweefube w’okutaasa abaana b’eggwanga.” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Ono abajjukiza omulamwa gw’emisinde gino ogw’abasajja okukulemberamu olutabaalo okutaasa abaana abawala okukwatibwa ekirwadde kya Mukenenya, nga Ssaabasajja Kabaka bwe yasiima.
Owek. Ssekabembe asiimye ab’eggombolola n’essomero lya Bulemeezi Senior Secondary School olw’okuvaayo nebagula emijoozi gino, okusobola okuyambako okunnyikiza kaweefube ono.
Omwami w’eggombolola ya Ssaabawaali Kalagala -Masiki mu Ssaza ly’e Bulemeezi, Rev. Fr. George Abraham Kaleebu, ategeezezza nti basazeewo okwenyigiramu olw’omukwano gwe balina eri Obuganda wadde ng’embeera y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ebakosezza nnyo.
Nannyini ssomero lya Bulemeezi SSS, annyonnyodde nti omusingi gw’essomero lyabwe gwa Buganda nga n’abayizi babaggya mu Buganda ng’eno y’ensonga lwaki bakwatibwako butereevu.
Emisinde gino gigenda kuddukibwa mu nkola ya Sayansi, nga 29/ November/ 2020 era nga Ssaabasajja Kabaka asiimye okugisimbula n’abantu batonotono mu Lubiri e Mmengo.