Bya Gladys Namyalo
Bulange
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Henry Ssekabembe Kiberu, akunze abantu ba Buganda okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa nga 29/November/2020 kiyambe okulwanyisa ekirwadde kya Siriimu.
Owek. Ssekabembe agambye nti wadde abasinga essira balitadde ku kulwanyisa Ssennyiga Corona naye balina okukimanya nti siriimu akyalimu w’ali era ng’omumuli guweereddwa basajja, okukuliramu olutabaalo kiyambe okutaasa abaana ab’obuwala.
Bino Ssekabembe abyogeredde Bulange Mmengo mu Kampala ku Mmande bw’abadde alambulula ku nteekateeka y’emisinde gino eri bannamawulire.
“Tusuubira abantu ba Ssaabasajja Kabaka ffenna nga tetweyawuddemu mu nzikiriza n’amawanga mu myaka, abavubuka, abakadde twandijumbidde nnyo enteekateeka eno kubanga esimbiddwa wakati mu kiruubirirwa eky’okulwanyisa obulwadde buno obwa Mukenenya.” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Minisita Ssekabembe annyonnyodde nti Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akendeeza ku nsimbi z’omujoozi gw’okuddukiramu ogwabadde ku 15,000 nezidda ku 10000 olw’ensonga nti alabye abantu be nga bakoseddwa ekirwadde ky Ssennyiga Corona.
Ssekabembe akubirizza abantu ba Kabaka okwekebeza ekirwadde kya Mukenenya era singa bakizuula nti balwadde batandike eddagala era n’abasangibwa nga balamu beekuume ekirwadde kino.
Ono alambise abantu ba Kabaka ku ngeri emisinde gino gye gigenda okuddukibwamu olw’embeera ya COVID-19.
Ssekabembe agambye nti Beene asiimye asimbule abaddusi kikumi bokka mu Lubiri e Mmengo ate abantu abalala baddukire mu bitundu byabwe mu nkola ya Ssaayansi.
Ategeezezza nti emijoozi bagenda kugisindika mu Masaza ag’enjawulo okulaba nga gituuka ku bantu ba Nnyinimu.
Akkaatirizza nti okuva ku ntandika buli mwaka emisinde gino gibaddeko omulamwa ogw’enjawulo nga okulwanyisa ekikulukuto mu bakyala (Fistula), Nnalubiri (Sickle Cell) era nga giyambye okukendeeza ebirwadde bino.
Owek. Ssekabembe agambye nti basuubira nti omwaka 2023 we gunaatuukira nga balina we batuuse mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.