
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Okwewumuzaamu mu Buganda, Owek.Henry Ssekabembe Kiberu akubiriza abantu okufuba ettaka lyabwe kubanga kye ky’obugaga kyebalina era Obuganda kwebwazimbibwa.
Okuwa bubaka buno, Owek. Ssekabembe abadde atikkula Oluwalo okuva mu ssaza lye erye Bugerere oluwalo ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo.
“Mukuume ettaka lyammwe. Tosobola kutwala nsi ku ntikko nga tekuuma bya bugagga byaayo. Bwemutakuume byabugagga byammwe nga n’ettaka mwolitwalidde tujja kufuuka emmomboze,” Owek. Ssekembe bw’annyonnyodde.
Minisita Ssekabembe agambye nti ku bumu bano bwebalaze tewali kubuusabuusa nti olutindo oluzza Buganda ku ntikko lugenda kugatta abavubuka, abaana, abasajja bakulu, bannaddiini awamu n’abantu ab’enjawulo okusobola okukyuusa embeera.

Owek. Ssekabembe asabye abantu okumanya nti byonna ebikolebwa mu bwakabaka byesigamiziddwa ku bintu ebitumbula embeera z’abantu ba Beene.
Abeebazizza olw’okunywerera ku Buganda wakati mu Kwagala, okugumiikiriza, okumalirira n’okwewaayo kuba waliwo bangi abaagala okubawabya nga babajja ku Mulamwa babaawule ku gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.
Ye Ssaabawolereza wa Buganda Owek.Christopher Bwanika bano abeebaziza olwokumannya obuvunannyizibwa bwabwe ate nebafaayo okubutuukiriza.
Ensimbi eziwerera ddala Obukadde 18 zezileeteddwa eggombolola ezenjawulo okuva mu ssaza rya Ssaabasajja erye Bugerere mu nteekateeka ya Luwalo Lwaffe ziyambeko mu kutambuza emirimu gy’Obwakabaka okuyita mu kugula Satifikeeti.
Ezimu ku gombolola ezikiise embuga kubaddeko Mumyuka Kayunga, Musaale Kangulumira , Ssaabaddu Galilaaya , Ssaabagabo Kayonza n’endala.









