Bya Ssemakula John
KAMPALA
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga Minisita w’abakozi Mwesigwa Rukutana, bwalina okuvunaanibwa olw’okujjirayo abantu emmundu bwebabadde mu kulonda akamyufu ka NRM ku Lwokutaano.
Museveni bino yabitadde ku mukutu gwe ogw’omutimbagano gwa Twitter yanyonyodde nga efujjo n’obuvuyo awamu n’okubba obululu ebyeyolekedde mu kamyufu byonna bigenda kunoonyerezebwako nasuubiza nga bino bwebikomye.
Pulezidenti Museveni yategeezezza nti, “Abo abakuba abantu e Bukono bonna bali munda ate abalala badduse. Minisita Rukutana ali mu kkomera era ono n’abalala abenyigidde mu fujjo bagenda kuvunaanibwa; okukuba abantu, okugezaako okutta omuntu n’okutta omuntu n’emirala.”
Rukutana yakwatiddwa mu ttuntu ku Lwomukaaga okuva mu makaage e Rushenyi era nga Polly Namaye yategeezezza nga Rukutana n’abakuumi be basatu bwebagenda okuvunaanibwa omusango gw’okugezaako okutta omuntu n’emisango emirala.
Minisita Rukutana agambibwa okwetaba mu buvuyo obwaliwo nga bannakibiina e Rushenyi balonda anabakikkirira mu palamenti, okukakkana nga Dan Rwiburingi omuwagizi wa Noame Kabasharira eyali avuganya Rukutana afunye ebisago ebyamanyi ku mutwe natwalibwa mu ddwaliro e Mbarara nga ali mu mbeera mbi.
Rukutana nga n’okutuusa kati akyali munda asuubirwa okuleetebwa mu kkooti leero ku Mmande era avunaanibwe wamu n’abakuumi be.
Ku Lwomukaaga Rukutana yavaayo nategeeza nga bwatanakuba ku muntu ssasi naye waliwo akatambi akakyatambula ku mitimbagano nga kamulaga nga asika ku mukuumi we emmundu nga bwawera nga gwaliko gwagenda okukuba.