• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Nkalubo alabudde abasaanyaawo obutonde bw’ensi

Gambuuze by Gambuuze
February 17, 2021
in Amawulire
0 0
0
Minisita Nkalubo alabudde abasaanyaawo obutonde bw’ensi
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Wakiso

Bannayuganda naddala bannakibuga  balabuddwa ku bizibu ebiyinza okuddirira singa bagenda maaso n’okutyoboola obutonde bw’ensi nga bwe kizze kirabika.

Okulabula kuno kukoleddwa Minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, bw’abadde asisinkanye aba kkampuni ya  Biofertilizer Africe Ltd olwaleero, ng’eno erongoosa kasasiro n’emukolamu ebintu eby’omugaso e Kawanda mu Wakiso.

Minisita Nkalubo nga alambula ebimu ku byuma eby’omulembe

Minisita Nkalubo agamba nti wadde Obwakabaka bufubye okulaga abantu obuzibu obuli mu kusaanyaawo obudde bw’ensi, naye bangi tebafuddeyo era kino kitadde Buganda ne Uganda mu katyabaga.

“Bwe twogera obutonde bw’ensi, tuba tutegeeza enkula y’ensi, naddala Nnyaffe Uganda omuli; entobazzi, emiti, obuyonjo mu bantu, enkuuma ya kasasiro, nnaffe abantu tuli kitundu ku butonde bwensi. Era y’ensonga lwaki nti n’ettemu kivve anti kwonna kumenya mateeka ga butonde bw’ensi.” Minisita Nkalubo bw’agambye. Minisita Mayanja annyonnyodde nti buli lukya ebikolwa eby’okusaanyaawo obutonde bw’ensi byeyongera bw’ogeraageranya n’emyaka egiyise, ekintu ekyoleka akabi akoolekedde Uganda.

Ono ayagala wabeewo ekikolebwa ku kkampuni ne bbizineesi ezikola ebintu ebyongera okwonoona obutonde bw’ensi kuba bano baweereddwa emisomo egy’enjawulo wabula bakyalemeddwa okukyusaamu.

Ate kyo ekibiina ekimu ku ebyo ebivunaanyizibwa okukung’aanya kasasiro ekya Justcleanit, kigamba nti abantu bakyetaaga okusomesa, kuba nabo bafuna okusoomoozebwa mu kukung’aanya kasasiro mu bantu okusobola okutaasa obutonde.

Ye akulira akulira kkampuni ya Biofertilizer Africe Ltd Abduhkarim Dedya, agamba nti enkola eno  gye baleese yaakutaasa  ku kusaasaanya kasasiro nga batandikira wano mu Kampala.

W’osomera bino nga kkampuni eno eya Biofertilizer Africe Ltd ekyali mu kugezesebwa era akadde konna yaakutongozebwa etandike okukola egyayo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist