Bya Ssemakula John
Wakiso
Bannayuganda naddala bannakibuga balabuddwa ku bizibu ebiyinza okuddirira singa bagenda maaso n’okutyoboola obutonde bw’ensi nga bwe kizze kirabika.
Okulabula kuno kukoleddwa Minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, bw’abadde asisinkanye aba kkampuni ya Biofertilizer Africe Ltd olwaleero, ng’eno erongoosa kasasiro n’emukolamu ebintu eby’omugaso e Kawanda mu Wakiso.
Minisita Nkalubo agamba nti wadde Obwakabaka bufubye okulaga abantu obuzibu obuli mu kusaanyaawo obudde bw’ensi, naye bangi tebafuddeyo era kino kitadde Buganda ne Uganda mu katyabaga.
“Bwe twogera obutonde bw’ensi, tuba tutegeeza enkula y’ensi, naddala Nnyaffe Uganda omuli; entobazzi, emiti, obuyonjo mu bantu, enkuuma ya kasasiro, nnaffe abantu tuli kitundu ku butonde bwensi. Era y’ensonga lwaki nti n’ettemu kivve anti kwonna kumenya mateeka ga butonde bw’ensi.” Minisita Nkalubo bw’agambye. Minisita Mayanja annyonnyodde nti buli lukya ebikolwa eby’okusaanyaawo obutonde bw’ensi byeyongera bw’ogeraageranya n’emyaka egiyise, ekintu ekyoleka akabi akoolekedde Uganda.
Ono ayagala wabeewo ekikolebwa ku kkampuni ne bbizineesi ezikola ebintu ebyongera okwonoona obutonde bw’ensi kuba bano baweereddwa emisomo egy’enjawulo wabula bakyalemeddwa okukyusaamu.
Ate kyo ekibiina ekimu ku ebyo ebivunaanyizibwa okukung’aanya kasasiro ekya Justcleanit, kigamba nti abantu bakyetaaga okusomesa, kuba nabo bafuna okusoomoozebwa mu kukung’aanya kasasiro mu bantu okusobola okutaasa obutonde.
Ye akulira akulira kkampuni ya Biofertilizer Africe Ltd Abduhkarim Dedya, agamba nti enkola eno gye baleese yaakutaasa ku kusaasaanya kasasiro nga batandikira wano mu Kampala.
W’osomera bino nga kkampuni eno eya Biofertilizer Africe Ltd ekyali mu kugezesebwa era akadde konna yaakutongozebwa etandike okukola egyayo.