Minister Dokita Ruth Acheng, Abakungu okuva mu Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya wakati ne ba memba ba Palamenti baziyiziddwa okuyingira owazimbibwa eddwaliro ly’ekikugu e Lubowa. Bano babadde bagenze okwekenenya engeri emirimu egikolebwa wano gyegitambulamu.
Kinajukirwa nti omwaka oguwedde palamenti y’eggwanga yayisa sente obukadde obuwerera ddala bisatu n’omusobyo eza Doola ezawebwa invesita okutandika omulimu guno. kyokka kati abantu bebamu abayisa sente zino ate bebatakirizibwa kulambula mulimu bwegutambula.
Eddwaliro lino lisangibwa Lubowa ku luguudo lw’Entebbe era nga ligambibwa okuba nga lya kukola ku ndwadde eze kikugu, okusomesa abasawo abajanjaba endwadde zino ezisinga okutwala bannansi emitala wa mayanja okujanjabibwa, okujanjaba abalwadde ba Cancer, okulongoosa endwadde ez’enjawulo awamu nokukola okunonyereza mu kisaawe ky’ebyobulamu.