Bya Musasi Waffe
Dr Prosperous Nankindu Kavuma, minisita mu Bwakabaka avunanyizibwa ku by’enjigiriza atenderezza nnyo omutindo essomero lya Kids and Love Day care Kindergarten erisangibwa e Bwebajja ku luguudo lw’Entebbe gwerikozesa okusomesa abaana. Nankindu abadde omugenyi omukulu ku kivvulu ky’essomero ekimalako omwaka, abayizi mweboolesezza ebintu eby’enjawulo byebayize omuli, okuyimba, okuzannya emizannyo (drama), n’okwolesa.
“Twebaza abatandisi b’essomero lino, sikyangu okuleka omulimugwo n’oggya okusomesa. Bwotandika essomero, oba eddwaliro oba toyagala magoba wabula okuweereza abantu. Abaana baffe bayiga mungeri ez’enjawulo, naye abato ennyo bayiga kwabo bebabeera nabo n’olwekyo, nkubiriza abazadde okuleeta abaana baabwe ku ssomero lino,” Nankindu bweyategeezezza. Yagasseeko nti essomero lyateekebwateekebwa bulungi nga lirina ebizimbe ebiri ku mutindo gwennyini ogwetaagisa ate nga kifo kiyonjo era basuubira nti abaana baggya kusoma bulungi. “Kirungi okumanya omwanawo ani amulina kubanga kikulu nnyo okusomeseza abaana awali abantu ab’obuvunanyizibwa.” Ku mukolo gwegumu, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasiimye nnyo abazadde ababeesize nebabawa abaana baabwe, n’abakakasa nti tebaggya kubayiwa.
Yasiimye nnyo mukyalawe Margret Mayiga omutandisi w’essomero lino. “Ssewuunya nti yatandika essomero lino era sikakasa nti nali mulabyeko nga musanyufu nga bwali kati. Buli lwadda eka ayagala okumbuulira ebifa ku ssomero naye oluusi mba mukoowu,” Mayiga bweyagambye. Yagaseeko nti ekintu ekisinga obukulu kwekwagala abaana n’okubafaako, kino kijja kubakuza nga bantubalamu. Ate ye Margret Mayiga yasiimye nnyo abazadde ababawadde abaana n’agamba nti, bagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga batuukiriza obweyamu bwabwe.