Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Minisita w’ebyenjigiriza, Owek Prosperous Nankindu Kavuma, asanyukidde eky’ekitongole ekirambika eby’ensomesa mu ggwanga ekya ‘National Curriculum Development Centre’ okukyusa ebiwandiiko mu nnimi ennansi.

Okusiima kuno, Owek. Nankindu akukoledde ku Speke Hotel mu Kampala olwaleero ku Lwokutaano nga bafundikira omusomo gw’okukyusa ebiwandiiko mu nnimi ennansi ogumaze ennaku ennya.
Owek. Nankindu agambye nti Obwakabaka bukkaanya ne Dr. Grace Baguma ku bwetaavu bwa gavumenti okuteeka ensimbi mu bitongole ebikyusa ebiwandiiko basobole okwanguyiza abantu okuyiga okusoma.
Ono asabye gavumenti eteekemu ssente bave ku kulowooleza mu bavugirizi buli kadde.
“Tukizudde nti omuntu bw’aba tamanyi kusoma, tasobola kubeera bulungi mu nsi, taba na mirembe. Mujjukira tw’alina wano bannabyabufuzi nebabawa okulayira nga tebasobola kukola kirayiro ekyo,” Minisita Nankindu bw’agambye.
Owek. Nankindu annyonnyodde nti baagala abaana bayige okusoma ebiwandiiko nga bakyaali bato naddala mu kiseera kino ng’abaana bali waka olwa ssennyiga Corona.
Omulimu guno gukoleddwa aba ‘Reading Association of Uganda’ wamu ne ‘Room to Read’ era ng’enteekateeka etuumiddwa ‘Ideal Book Collection nga eruubiriddwamu okufulumya obutabo 60 obw’engero

Bano batandikidde ku bukyusa mu lulimi olugenda, Olunyankore n’Olukiga, nga bajja kugattako ennimi endala kiyambe abaana okuva obuto nga baagala okusoma ebitabo.
Ye Dr. Baguma agambye nti ebitabo bino biwera ebigenda okukyusibwa biwera 120 era nga bigenda kugabibwa mu masomero ga gavumenti eri abaana okuva mu Nnasale okutuuka ku P.4.
Baguma alaze nti waliwo omulimu ogukoleddwa nga kati bannansi bagenze bayiga okusoma n’okuwandiika bw’ogeraageranya n’emyaka ettaano egiyise.









