Musasi waffe
Minisita avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu n’ebyobulamu Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma asabye abantu wakati mukwetangira ekirwadde kya COVID-19 obuteerabira kwekebeza kirwadde kya Nalubiri.
Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire ku Bulange e Mmengo ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lwa Nalubiri olukwatibwa buli June 19 mu nsi yonna, Nankindu asabye abaamawulire okugenda mu maaso nga bategeeza Obuganda ku kabenje akali mu bulwadde buno.
“Gavaumenti yateeseteese omukolo ku Medical Laboratory e Butabika naye mukolo gw’abantu batono era tugenda kujjukira abantu baffe abalwadde ba sickle cells. Tulowooza ku balwadde ba Nalubiri twagala balabirirwe, bafune okubudaabudibwa n’okubeera n’essuubi. Era tulowooza ku bazadde abalina abaana abalina Nalubiri,” Nankindu bwayagambye.
Yagasseeko nti okusinziira ku kunoonyereza, abantu 13.3 ku buli 100 mu Uganda balina akataffaali akatambuza Nalubiri; omuwendo gweyayogeddeko nti gukyali munene ddala.
“Abalwadde abasinga obungi tebaweza myaka etaano. N’olwkeyo, twagala okwongera okusomesa ku nsonga ya Nalubiri abavubuka abateekateeka okuwasa n’okufumbirwa mumale ku kebera akatoffali ka Nalubiri mu kakase nti gw’ogenda okutwala takalina.”
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi abadde ajja akiddingana lunwe nti abaantube beekebeze obulwadde bwa Nalubiri nga tebannaba kuwasa na kufumbirwa.
Kabaka era adduukiridde omulanga gw’okulwanyisa Nalubiri ng’awaayo ebyuma ebikabera obulwadde buno.