Bya Stephen Kulubasi
Bulange- Mmengo
Minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, alabudde ab’amasomero abawa obwakabaka bbasale kyokka ne basigala nga basasuza abayizi ssente ezo zennyini ezisasulwa ku masomero gano nti, kino kirina okukoma.
“Tubadde n’okusoomoozebwa nga ab’amasomero abamu bajja ne batugamba mbu batuwadde bbasale era olumu ne tubawa abayizi kumbe ebisale bye bimu bye bisasulwa abatali ku bbasale, naye ekyo twakitegedde era tekigenda kuddamu kubaawo.” Bw’atyo Minisita Nankindu bw’agambye.
Okulabula kuno Minisita Nankindu akukoledde mu nsisinkano gy’abaddemu n’olukiiko olulondoola ebyenjigiriza mu Bwakabaka, baminisita n’abakungu abakwatibwa, leero mu Bulange e Mmengo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo.
Minisita Nankindu agamba nti Obwakabaka bukyagenda mu maaso okunoonyeza abayizi bbasale mu matendekero aga waggulu omuli n’ago agali emitala w’amayanja wadde wakyaliwo ebisoomooza.
Ku nsonga ya bbasale, abakiise basabye ekizibu kya bbasale enjigirire kyogere okulinnyibwa ku nfeete nga bayita mu minisitule okukolagana ne bannannyini masomero so si abagaddukanya.
Abakiise bano Minisita Nankindu abanjulidde ebisoomoozo wamu n’ebyo ebituukiddwako mu kuvvuunuka ebisoomoozo bino.
Owek. Nankindu ategezezza nti akakiiko k’Obwakabaka akategeka ebibuuzo by’okwegezaamu kakyakola ogwako wadde nga kasoomoozebwa ekizibu ky’ensimbi era n’asaba abazadde bakolagane n’Obwakabaka bwe wabaawo ekyetaagisa okusasulira.
Ono annyonnyodde nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kizing’amizza nnyo emirimu gyabwe wabula ate ne kibayambako okwongera okubeera abayiiya n’okwettanira tekinologiya awamu n’okusomeseza abaana ku Mutimbagano, Terefayina awamu ne leediyo.
Abakiise mu lukiiko luno basabye wabeewo okulondoola ebivudde mu bigezo ebitegekebwa Obwakabaka okukakasa nti abayizi ababiganyulwamu ate wateekebwewo enkola Obwakabaka mwe buyinza okuyita okuyambako abayizi abayise mu matendekero gaabwo okufuna emirimu.
Ssaabagunjuzi w’Ekisaakaate kya Nnaabagereka era nga naye mukiise ku lukiiko luno, Owek. Rashid Lukwago, asabye enteekateeka y’okwogera n’abazadde ku nsonga y’enkuza y’abaana ekolebweko bunnambiro kubanga abawala abataneetuuka basusse okufuna embuto.