Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Minisita w’ebyengiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Prosperous Nankindu, akunze amasomero n’abantu ssekinnoomu okugula emijoozi era beetabe butereevu mu nteekateeka y’emisinde gy’Amazaalibwa nga 29, November 2020.
Bino Owek. Nankindu abyogeredde mu woofiisi ye e Bulange – Mmengo bw’abadde akwasa abakulira amasomero n’amatendekero g’Obwakabaka abaguze emijoozi egimbalirirwamu obukadde obusoba mu butaano.
“Buli muntu ayambale omujoozi, bw’oba tootambule, dduka bw’oba todduke gusiibemu, omanye nti weetabye mu kintu era oli mu misinde gya Ssaabasajja Kabaka.” Minisita Nnakindu bw’asabye.
Amasomero agaguze emijoozi kuliko Buganda Royal Institute, Lubiri High School Mmengo ne Lubiri High School e Buloba awamu n’amalala.
Owek. Nankindu abasiimye olwokutambuza obulungi emirimu wadde ng’embeera eno nzibu ne basalawo okugulira abayizi emijoozi.
Owek. Nankindu basabye amasomero amalala okujjumbira enteekateeka eno era n’ategeeza nti ssente zonna ze balina zisobola okugula emijoozi.
Abakulira amatendekero n’amasomero ga Buganda Royal Institute, Omuk. Anthony Wamala, Omuk. Nagujja Sarah Kikomeko n’abalala, beeyamye okwetaba mu misinde gino egyokubeerawo nga 29, November 2020.