Musasis waffe
Minisita mu gavumenti ya Kabaka avunanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu Oweek. Dr Prosperous Nankindu Kavuma akubirizza abantu ba Buganda okwettannira okuwandiika ebitabo ng’emu ku ngeri y’okukuumamu olulimi Oluganda.
Bwabadde asisinkanye abakulu b’amasomero okubakwasa enkuluze y’olulimi Oluganda e Bulange Mmengo, Nankindu agambye nti teri lulimi lusobola kunywera nga siluwandiike.
“Tukubiriza buli muntu alina kyawandiika awandiike; buli muntu asobola. Nkimanyi nti ensimbi teziriiwo okusobola okubikuba mu kyapa, naye tusobola okukuuma ebitabo bino ku mutimbagano,” Nankindu bwagambye.
Asabye abo bonna abalina kyebaagala okuwandiika, bagende e Mmengo baweebwe amagezi ab’ekitongole kya ministule y’ebyenjigiriza wamu n’abekibiina ky’olulimi Oluganda bayambibwe.
Enkuluze eno yawandiikibwa Omuzungu Alan Hamilton era nga agabidde Obwakabaka kkopi eziwerera ddala ezigenda okugabibwa mu masomero.
Nankindu asiimye nnyo Hamilton olw’eddimu lye yeekebakkeba n’aliggusa. Kino agambye nti kyakusoomooza kinene eri abasomesa mu Buganda baagambye nti nabo balina okubaako nekyebakolawo.
“Twagala okukwebaza ebbanga eddene lyewateekamu okuwandiika ekitabo kino. Oli asobola okukola ebirala ebivaamu n’essente kubanga mukimanyi nti okuwandiika temuli ssente,” Nankindu bwagambye.
Yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusiima n’awandiika mu kitabo kino.
“Kabaka yatulagira tukuume Oluganda ate tulusomese. Tukubiriza abazadde okugula ekitabo kino okuyamba abaana okumanya ennimi Olungereza n’Oluganda okuyambako abaana okutegeera,” Nankindu bwagambye.
Amasomero ag’enjawulo mu Buganda gaweereddwa kkopi z’enkuluze eno.