Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nabakooba, aweze okumalako ekisanja kye kyonna ng’alwanyisa ekibbattaka mu ggwanga.
Nabakooba ategeezezza nti Pulezidenti Museveni bwe yali amulonda yamulagira okukomya ekibbattaka ekiri mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
“Ekibbattaka kitabudde obulamu bwa bannayuganda bangi, famire nnyingi zitambulira mu kutya kuba tezimanyi kigenda kuddako.” Minisita Nabakooba bwe yategeezezza ku Ssande nga’ayogerako ne bannamawulire mu Kampala.
Ono agamba nti waliwo obwetaavu okutereeza engeri ensonga z’ettaka gye zirondoolwa nga beeyambisa tekinologiya.
“Woofiisi yange efunye okwemulugunya kungi ku buzibu abantu bwe bafuna nga bagezaako okuyambibwa mu ngeri ez’enjawulo. Empeereza ezimu tebasobola kuzifuna, ekintu ekibamalamu amaanyi.” Nabakooba bwe yagasseeko.
Minisita Nabakooba yategeezezza nti okutereeza obuweereza obwenjawulo mu Minisitule y’ebyettaka bye bimu ku bintu by’atandikiddeko. Okukakasa kino, ono yagguddewo ekifo ekiteekeddwamu tekinologiya n’essimu 0800 100 004 etali yakusasulira, abagobaganyizibwa ku ttaka kwe balina okukuba okuloopa.
Essimu eno egenda kukozesebwa ku nsonga zino wammanga;
1- Okuloopa abasengula abantu mu bukyamu.
2- Okuloopa ebikolwa by’okugulirira n’okulya enguzi.
3- Okulondoola ensonga z’ettaka ezikwatiddwa akasoobo.
4- Okwemulugunya n’okuwaabira abakozi abeebuzabuza n’okukola obubi emirimu.
5- Okugoberera ku nsonga z’okuliyirirwa wamu n’okubalirira ettaka.
6- Okumanya amawulire agakwata ku pulojekiti ez’enjawulo Minisitule zerina.
7- Okuloopa obufere n’okujingirira ebiwandiiko awamu n’ensonga endala zonna ezikwata ku ttaka, amayumba n’ebibuga.