Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyempuliziganya awamu n’okulung’amya eggwanga, Judith Nabakooba, asabye bannayuganda okuddayo bakole, bazimbe eggwanga lyaffe era beeyambise emikisa egibateereddwawo gavumenti.
Ebifo byonna ebiri ku kalenda ebirina okulonderwamu abakulembeze byonna byajjuziddwa nga 03 / February, 2021, era wano Nabakooba w’asinzidde n’akunga bannayuganda okudda ku mirimu basobole okuzimba eggwanga lyabwe. Okusaba kuno Nabakooba akukoze ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Minisitule mu Kampala.
“Njozaayoza bonna abeetaba mu kalulu. Okusaba kwange eri buli omu kwe kuddayo ku mirimu tutuukirize obuvunaanyizibwa bwaffe eri famire zaffe wamu ne ggwanga lyaffe. Buli omu anoonya omukisa oguteekeddwawo gavumenti nga tutandikira ku ggombolola.” Nabakooba bw’asabye.
Nabakooba annyonnyodde nti gavumenti etaddemu nnyo ku mutendera gw’eggombolola ng’emyooga, Youth Livelihood funds n’endala.
“Mugende ku ggombolola zammwe, mubabuuze ebikwata ku nteekateeka zino n’engeri gyemusobola okuzetabamu.” Nabakooba bw’agasseeko. Alabudde abantu okwerinda ekirwadde kya Ssennyiga Corona kuba kikyagenda mu maaso n’okutta abantu.