![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Nabakooba.png)
Bya URN
Minisita omuggya mu
gavumenti eyawakati akola ku nsonga za tekinologiya era omubaka omukyala
akiikirira disitulikiti y’e Mityana mu palamenti Judith Nabakooba anokoddwayo
ng’omu kubantu abalamereddwa okusasula ssente
zeyeewola okuva mukittavvu kya Poliisi.
Nabakooba yali mwogezi wa poliisi eyawummulira ku ddaala lya kamisona era nga
yeesimbawo mu 2016 okuvuganya ku kifo kya palamenti kyeyawangula. Omwaka
oguwedde nga gugwako, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yamulonda
nga minisita okuddira Frank Tumwebaze mu bigere ng’ono yatwalibwa mu minisitule
ekola ku kikula ky’abantu.
Alipoota
eyakoleddwa abakulira ekittavvu kya poliisi enokolayo Nabakooba ng’omu ku boofiisa
abakulu abaawummula emirimu gya poliisi wabula nga baalemererwa okusasula
amabanja agababangibwa. Nabakooba abangibwa akakadde kamu n’emitwalo nsanvu.
Abalala ababangibwa naye nga nabo banyukka
emirimu gya poliisi kuliko, Ocan Ben, Mutabazi
Juliet, Wanitho Marcellino nga bano babangibwa obukadde obuli wakati w’obuna n’omukaaga.
Omumyuka wa
ssenkaggale wa poliisi Edward Ochom yategeezezza nti kati bagenda kuteeka
ekkomo ku ssente ze bawola boofiisa abanaatera okuwummula. Yayongeddeko nti
munamateeka wabwe agenda kuwandiikira abo bonna ababangibwa okulaba nga
basasula naye singa balemererwa, bandi badda embuga.
Ekittavu kya poliisi era kyafiirwa obukadde 16, oluvanyuma lw’okufa
kw’aba ofiisa abaali babangibwa.