
Bya Ssemakula John
Butikkiro – Kyaddondo
Minisita w’Ennono n’ Obuwangwa era avunannyizibwa ku by’ Obulambuzi mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male asabye Gavumenti esooke kwebuuza ku bakwatibwako nga tennagereka bisale by’amasomero kuba bannanyini masomero g’obwannanyini bayita mu bingi.
Bino Owek. Kyewalabye Male yabyogeredde mu Butikkiro e Mmengo ku Lwomukaaga nga aggalawo omwoleso gw’ebyenjigiriza ogwatuumiddwa ‘Nange Ka Nsome.’

“Abali mu by’enjgiriza mu masomero g’ obwannanyini balina bbanka n’ebirala ebibatunuulidde, tosobola kubagerekera ssente nga tobayise mu kisenge kimu kwogera. Kituufu mulimu abali mu byenjigiriza abanyigiriza abantu ba bulijjo naye abo tulowooza nti gavumenti yandigakutteko nga go kuba esobola okugamanya gyegali,” Owek. Kyewalabye bwe yategeezezza.
Minisita Kyewalabye agamba nti gavumenti yanditandikidde ku masomero gaayo negereka ebisale kubanga go egamanyi bulungi n’essente zegamalawo okutuuka wegali naye ku masomero g’obwannanyini kikyamu kuba bangi bali mu mabanja.

Owek. Male yeebazizza nnyo Ekibiina ky’Olulimi Oluganda, olw’enteekateeka eno, n’abasaba okuyamba ku gavumenti nga bagifunira abasomesa b’Olulimi Oluganda ab’omutendera ogwa pulayimale.
Akubirizza abawandiisi bettanire okuwandiika mu nnimi enzaaliranwa, abantu bongere okuzitegeera era zisobole okukuumibwa.
Akulira ekibiina ky’olulimi Oluganda ategeezezza nti basalawo okutegeka ensisinkano wakati w’omusomesa omuzadde n’omwana okusobola okwongera ku nkolagana.
Ye Omukungu wa Stanbic Bank, Henry Ssenteza annyonnyodde nti nga bbanka beetegefu okukolagana n’ekibiina ky’olulimi oluganda ne Buganda okutumbula embeera z’abantu ba Buganda.









