![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/12/WhatsApp-Image-2019-11-30-at-9.16.34-PM-1024x683.jpeg)
Musasis waffe
Minisita w’Ennono, Embiri n’Obulambuzi Oweek. David Kyewalabye Male atenderezza ab’ekika ky’e Mmamba olwa kaweefube gwebatandise okubangula abaana ba Buganda bwe batongozza enteekateeka y’okuzimba ebbanguliro ku Butaka bwabwe a Sagala-Buwaya erimanyiddwa nga Gabunga Education Centre. Okusiima kuno Oweek. Kyewalabye akukoledde Buwaya bw’abadde akiikiridde Katikkiro ku mukolo gw’okutema evvuunike ly’ebbanguliro lino wamu n’okumanyagana kw’abazzukulu ba Gabunga okwa buli mwaka. Omulamwa gw’omwaka guno gubadde gutambulira ku ‘Bumu n’enkulakulana mu bika.’ Omukolo gukuliddwamu omutaka w’akasolya Gabunga era nga yebazizza abazzukulu naddala abo abaali baazayira mu bitundu eby’enjawulo nga Busoga n’e Bunyoro abazze mu bungi. Bano baasuze ku kyoto nga basomesebwa ebikwata ku buwangwa n’ennono eby’enjawulo. Kyewalabye yasabye ababaddewo okwongera okwagazisa abaana n’abavubuka okwetaba ku mikolo nga gino kubanga z’empagi ezigenda okuyimirirako Obwakabaka mu biseera ebijja.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/12/WhatsApp-Image-2019-11-30-at-9.16.35-PM-1024x683.jpeg)
Minisita era yasiimye Omutaka Gabunga olw’okukubiriza abazzukulu okuwandiika ebitabo, n’ategeeza nti eno y’engeri yokka gyetugenda okukuuma ebyafaayo bya Buganda. Asuubizza okutunula mu bisomoozo eby’enjawulo mu kika okulaba engeri gyebiyinza okugonjoolwa. Wabula ayongedde okukubiriza abaddukanya ettaka ly’ekika okulaba nga balikolerako emirimu egirikulaakulanya lireme kubbibwa. Omukolo gwetabiddwako Katikiiro w’ekika, abakulu b’Amasiga, ebennyiriri wamu n’abemituba egy’enjawulo mu kika ky’emmamba. Ssemanobe omuggya wamu ne Nnalinnya Kannyange nabo babaddewo.