Musasi waffe
Minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku by’obulambuzi, embiri n’eby’obuwangwa Oweek. David Kyewalabye Male asiimye boodi y’ebyobulambuzi ebadde ekulemberwa Omuk. Jane Kabugo.
Oweek. Kyewalabye agambye bano bakoze omulimu matendo okukuza eby’obulambuzi ng’ate tebalina nsako gyebafuna.
“Njagala okubeebaza olw’omulimu ogukoleddwa boodi eno ogwamaanyi kubanga ensonga z’ebyobulambuzi ge gamu ku makubo omuva ensimbi ennyingi eziyimirizaawo eggwanga ate ne mu Bwakabaka amakubo gemuteeseewo gakoze kinene okulaba ng’ennyigiza mu Bwakabaka egenda waggulu,” Oweek. Kyewalabye bweyagmbye.
Ono era yeebazizza abakiise abawaddeyo obudde bwabwe okujjanga okuteesa nga ate emirimu gy’Obwakabaka gya nnakyewa.
“Tusuubira nti amakubo gemutemye, gajja kuba makulu nnyo okutwala Buganda ku ntikko,” Kyewalabye bweyagambye.
Ku lulwe, Kabugo yagambye nti Boodi yabwe ebaddeko bingi byetuseeko.
“Twebaza Ssaabasajja Kabaka okusiima tubeere nti ffe tugenda okuddukanya boodi eno. Twebaze Katikkiro Charles Peter Mayiga kubanga atuwadde obuwagizi n’okutulungamya,” Kabugo bweyagmabye.
Kabugo yategeezezza nti Boodi yaabwe esobodde okubaako byekoze okuli okufuna n’okukola enteekateeka nnamutaayiika ey’Amasiro g’e Kasubi nga basuubira nti ejja kuteekebwa mu nkola nga gawedde.
“Boodi yateekawo ebibumbe by’ebika bya Baganda, erongoosezza ennimiro ya wankaaki ne mu lubiri kubanga kyekimu ku bifo abantu byebasinga okwettanira,” Kabugo bweyagambye.
Mu birala, Boodi era esobodde okulambula ennyanja ya Kabaka n’okulongoosa ebifo byonna ebyobulambizi.