
Bya Francis Ndugwa
Kampala
Minisita w’ebyobulambuzi mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male alabudde abo bonna abatandise okusima omusenyi ku biyiriro by’e Kalagala okukikomya mu bwangu kuba kino kimenya mateeka era baakukolwako ng’amateeka.
“Nsabye abatandikiriza okusima omusenyi bakikomye kubanga ekisooka olina kusooka kufuna lukusa okuva mu kitongole ekikuuma obutonde bw’ensi era gwe mulanga gwe kuba buli awali ennyanja mu Buganda bayite mu mitendekera kuba mu butonde ennyanja erina okubaamu omusenyu okukuuma ebyennyanja n’ebitonde ebirala.” Minisita Kyewalabye bw’agambye.
Bino Minisita Kyewalabye abyogeredde mu kulambula kw’abaddeko n’aba bboodi ya Buganda ey’ebyobulambuzi.
Owek. Kyewalabye agambye nti ekifo kino kirimu ensonga z’Obuwangwa awamu n’ezoobulambuzi era baagala okulaba bwe bazikwasaganya n’abatuuze b’ekitundu kino nga bavaayo n’enteekateeka egasiza awamu okukikulaakulanya.
Minisita Kyewalabye ategeezezza nti kye baagala okukola kwe kulaba ng’ebyobuwangwa ebiri mu kifo kino tebitaataaganyizibwa kyokka ate n’ebyobulambuzi bisobola okukulaakulana mu kitundu era n’Obwakabaka bufunemu.
Ono era akubirizza abantu abali mu kifo kino okunyweza obwerufu ng’enteekateeka z’okukulaakulanya ekifo kino zigenda mu maaso kuba eddoboozi lyabwe kkulu nnyo ku ebyo ebikolebwa okusobola okubakuumira ku mulamwa.
Ssentebe w’akakiiko akalondoola ebyobuwangwa n’enonno ssaako n’ebyobulambuzi, Omuk. Benon Ntambi akalaatidde abantu ba Kabaka mu Buganda bulijjo okukuuma ebyobuwangwa n’enonno ssaako n’ebyobulambuzi okusobola okutumbula ebyobulambuzi mu Buganda.
Oluvannyuma Owek. Kyewalabye ne bboodi beeyongeddeyo mu ssaza ly’e Kyaggwe okweyongera okulambula ebyobuwangwa ebirala n’okumanya embeera mwebiri.









