Bya Ssemakula John
Kasengejje
MINISITA w’obuwangwa ennono, olulimi n’ebifo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, Kiwalabye Male alabudde abantu abalumba ebifo bya Buganda eby’enkizo nga baagala okubisaanyaawo era nga bakikola mu ngeri ya kkobaane.

Bwe yabaddde alambula omulimu gw’okuddaabiriza Olubiri lwa Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje mu Busiro ku Lwokuna, Male yagambye nti bagenda kutuula balabe ekigendererwa ky’ abantu bano kubanga ababirumba bafaanagana era nga ne woofiisi ze bakozesa okubisaanyaawo ze zimu.
“Guno gulinga mupiira, oli agukuba n’aguwa munne n’oli n’aguwa munne ppaka lw’aguteeba,” Minisita Kyewalabye bwe yategeezezza.
Minisita Male yasiimye omulimu ogukoleddwa Nnaalinnya okuddaabiriza amasiro gano wamu ne Nnaava alwanye okusuuza poloti abaali bazitutte.
“Twagala okwebaza abali ku mulimu guno, ogwokulaba nga Kabaka Kamaanya naye abeera mu kitiibwa ekisaanidde ku lusozi luno kw’ali, wamu n’okwebaza okulaba nti buli mulimu ogukoleddwa gugoberedde ennono n’obuwangwa bwaffe,” Kyewalabye bweyagasseeko.

Minisita yasuubiza okukwatagana ne Ssebwana, Ssaabalangira ne Bannaalinnya balabe nga battukiza ennono y’Abaami ba Kabaka okukuuma ebifo bino wamu n’okuwaayo ebiseera mu mwaka okudda nebabaako emirimu gyebakola kubanga kye kitiibwa ekyateeka Buganda ku ntikko.
“Tugenda kukola kyonna ekisoboka nti okutaasa ebifo bino kujja kugenda mu maaso, Obwakabaka buleme okusaanawo kubanga bw’osaanyaawo embiri n’amasiro Abaganda baligamba baali ludda wa?” Kyewalabye bweyasuubizza.
Ate ye Ssaabalangira Godfrey Musanje, yategeezezza nti ekisinga okumutabula kwe kulaba ng’abasinze okutunda ebifo bino bava mu Balangira bennyini era n’asaba Obwakabaka bukkirize ezimu ku ssente ezikung’aanyiza mu bulambuzi mu bino ziweebweyo okubirabirira.
Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza yasiimye Nnaalinnya w’amasiro gano n’ategeeza nti, omulimu ogukoleddwa wano gwa Ttendo era nga guggyayo bulungi ekifaananyi kya Buganda.
“Njagala okusaba abali mu Mbiri mukimanye nti Ssebwana bw’aba azze mu Lubiri nga waliwo ensonga ezimuleese, abeera azze kukola obuvunaanyizibwa obwamuweebwa Ssaabasajja Kabaka,” Ssebwana Kisiriza bweyannyonnyodde.
Ssebwana yagasseeko nti Bannaalinnya n’Abalangira abali mu Mbiri ez’enjawulo balina okukimanya nti ebifo bino bya Bwakabaka bwa Buganda era nga bo baliwo nga bakuumi baabyo.