Bya Gerald Mulindwa
Kyaggwe
Minisita w’obuwangwa ennono olulimi n’ebifo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, Kiwalabye Male, akubirizza ebika okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabyo awatali kwekubagiza, kiyambe okunyweza Obwakabaka.
“Obwakabaka bwe bwasaanawo tewali kika kyasigala nga bwekiri, n’olwekyo Obwakabaka bwe bwaddawo tebwaddirawo Mmengo naye bwaddawo mu Baganda yonna gye bwali. Noolwekyo ebika gyebiri awatali kwekubagiza, awatali kutuma mu kintu kyonna, bisaanye okukwata obuvunaanyizibwa bwabyo ku Kabaka,” Owek. Male bwe yagambye.
Bino, Owek. Kyewalabye yabyogeredde mu kutema evvuunike ly’olusuku omulina okuva empoomereze ya Ssaabasajja Kabaka ku mmayiro ya Sseruti e Kawongo, Nakifuma mu ssaza ly’e Kyaggwe, eggulo ku Lwokubiri.
Minisita Male yategeezezza nti ebika bwe binaanyweza obuvunaanyizibwa bwabyo, kyakuyamba okubiggyamu abasaatuusi ababinyigiramu kuba kizibu omuntu w’ebweru okuyingira mu bika singa bibeera bitambulira ku nnono yaabyo.
Kyewalabye yannyonnyodde nti okuviira ddala ku ndagaano Ssekabaka Kintu gye yakola n’abakulu, kimanyiddwa nti ebika byagabana obuvunaanyizibwa bwabyo era nga bino bye birina okunyweza Kabaka.
Yabisabye okudda ku nnono era n’awera nga bw’atandise ku nteekateeka y’okulaba ng’annunula obutaka bw’ebika ebyenjawulo era n’okulaba nga baziyiza ensowole okwewang’amya ku bukulu bw’ebika bino kubanga kye kisinze okuvaako ebizibu.
Ku nsonga y’olusuku lwa Sseruti, Owek. Kyewalabye yategeezezza nti baakutema evvuunike ly’ebbanyi lya Kabaka okunaateekebwa embidde okusobozesa omulimu gwa Sseruti n’abasenero ba Ssaabasajja Kabaka okutambula obulungi.
Owek. Kyewalabye yagasseeko nti okuva olusuku luno lwe lwasaanyizibwawo, Sseruti embidde abadde azikung’aanya ku byalo naye nga kati balina essuubi nti mu bbanga lya mwaka gumu gwokka olusuku luno lugenda kuba luzziddwawo.
Omukulu w’ekika ky’Ekibe Omutaka Muyige, Sulaiman Kinaalwa, yategeezezza nti mmayiro eno baagifuna kuva ku Ssekabaka Ssemakookiro era n’awera okukuuma ennono yaayo. Yasiimye Minisita Kyewalabye olw’okusitukiramu okuzzaawo olusuku luno.
Omutaka Kinaalwa yasabye Minisita Kyewalabye okusalira ekizibu kya balya nsowole amagezi, kubanga bano baddobokanyizza ebika n’okubiggya ku nnono yabyo.
Ate ye Sseruti Kidda Paul, yasiimye Minisita Kyewalabye olw’okufaayo okulaba nga mmayiro eno eya Sseruti eddawo.
Mu buwangwa n’ennono ya Buganda, Sseruti yavunaanyizibwa ku mpoomereze ya Kabaka anti Omutanda tanywa mwenge nga bwekiri ku mukopi.