Musasi waffe
Minisita wa Ssaabasajja Kabaka avunaanyizibwa ku Lukiiko, Kabineeti, Amawulire era omwogezi w’Obwakabaka asabye abavubuka mu Buganda ne Uganda okulekeraawo okukozesa obubi emikutu gy’emitimbagano.
Bwabadde ayogerako n’abavubuka ba ‘Buganda Lwazi,’ abakulembeddwamu Kasibante Godfrey, ababadde balaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri abantu abamu gyebalumbamu Namulondo nga bayita ku mitimbagano, Kiyimba agambye nti abalabe ba Buganda beesomye ensangi zino.
“Abantu abalala webakwatira enkumbi mu biseera bya covid, abalala ebiseera babimalira ku masimu kufumba bintu babiweereze bannabwe.
Tukozese bulungi nnyo emikutu gino kuba gisobola okutuyamba mubintu bingi. Naye tuleme kukozesa mikutu gino kutambulizaako bulimba nakuwalampa, nakulumba. Ebigambo ebitayita mu kamwa oli n’omulaba nga abifulumizza. Eyo ssi yenkola ey’omulembe Omutebi,” Kiyimba bwagambye.
Oweek. Kiyimba yeebazizza abavubuka olw’okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe mu Bwabakabaka ne bavaayo ku nsonga ezibutwala mu maaso.
“Njagala okubeebaza ennyo okumanya obuvunaanyizibwa bwammwe mu mulembe guno Omutebi. Bannakigwanyizi bwebavaayo nebalumba Namulondo awo woolabira omuvubuka,” Kiyimba bwagambye.
Ayongeddeko nti oyo yenna ayagala okumanya byonna ebifa mu Bwakabaka agende e Mmengo kubanga emiryango miggule.
“Ebintu byaffe tetubikolera mu bumooli oba wansi wa mmeeza era kyov’olaba tuvaayo nnyo kubanga ebyaffe bya lwatu,” Kiyimba bwagambye.
Ku lwa banne, Kasibante agambye nti ng’abavubuka tebagenda kugumiikiriza muntu yenna agezaako kulumba Obwakabaka.
“Waliwo abantu abagezaako okunafuya Obwakabaka naye tubakakasa nti tujja kulwana bwezizingirire okulwanyisa abantu abagezaako okuzza Buganda emabega,” Kasibante bwagambye.