
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’ensonga za Kkabineeti n’Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba asabye Gavumenti okuyambako abantu abawangaalira mu bifo ebisimibwa eby’obugagga eby’omu ttaka okusobola okubiganyulwamu.
Okusaba kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo kulwa Katikkiro okuva mu Bannabuweekula, Bannabuddu neba Scandinavia lwa bukadde 36 ku Lwokuna.
” Wano mu Buganda ebifo bingi ewabeera wazuuliddwa eby’obugagga eby’omu ttaka wabeerawo okutaataaganya abantu, okutulugunya abantu so ng’ ate ffenna twandibadde twaniriza eby’obugagga ebyo kati nga zzaabu kuba kyekimu ku by’obugagga ebisinga ebbeeyi naye tufuna enyiike ng’abantu mu bitundu ebyo batulugunyizibwa n’okukubwa,”Owek. Kiyimba bw’ategeezezzza.
Ono alabudde ku kusindikiriza abantu n’okubagobanya ku ttaka ewabeera eby’obugagga okukwatibwa obulungi era n’empeereza y’ebitundu nga Mubende omuli enguudo, amalwaliro n’ebirala bikolebweko nga bweguli e Bunyoro okuteekawo obwenkanya.

Owek. Kiyimba era agamba nti gavumenti esobola bulungi okuyamba abantu bano okufuna mu by’obugagga bino netakoma kubasenza luti mu kifo ky’okulyazamanya abantu b’ebitundu bino.
Bannabuweekula abasabye bulijjo okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka mu mbeera yonna wakati mu bizibu ebizze birumba ekitundu kyabwe omuli endwadde n’ebizibu ebirala.
Minisita Kiyimba akuutidde abazadde okwongera okulabirira abaana naddala mu luwummula luno kiyambe Buganda okufuna abaana abantu balamu era ab’empisa.
Ye Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu ,okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za bantu ba Buganda Owek.Joseph Kawuki akolokose abakuuma ddembe abeefunnyiridde okwennyigira mu bikolwa ebizza Buganda emabega nga bayita mu kutiisatiisa Abaami ba Kabaka n’engeri endala okubaggya ku buweereza.
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza lye Buweekula, Luwekula Immaculate Nantaayi annyonyodde nti enteekateeka ya Luwalo Lwaffe eyongedde amaanyi nobumu mu bantu ba Kabaka era bano beeteegefu okuweereza Beene awatali kumutiirira .
Abamu ku bakiise embuga mubadde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka ne gavumenti eyawakati ,abaana bamasomero nabantu abalala.









